TOP

Nze ku musajja omulungi kwenfiira

Added 15th December 2016

Ky’ogamba omulungi ne bw’aba mwavu nga kiwedde? Oteebye, nze omusajja omulungi aba amaze ebirala bijja luvannyuma.

Mukwano gyebaleko.

Kale bambi naawe gyebaleko.

Ndwawo okulaba abawala oboogera obulungi ggwe ani?

Ndeka nze tompaana, nze Beckie Musoni.

Kati olwo ate odda wa?

ηηenda waka.

Mperekeraako awaka kuba mpulira nnyinza obutasobola kutuuka nga ndi bw’omu.

Haha, akakodyo ng’okozesezza kafu! Nze ntya okunkuba.

Nedda ewange teri poliisi mpozzi nga ggwe ogirinayo?

Ekyo olaba kirabe omuwala nga nze siyinza kuba nga sirina ankuuma.

Nange nnina obukugu mu kukuuma abawala nga ggwe kuba kkojja yantendeka.

Haha, si buli ajja nti ankuuma, eyasookayo yakiggala.

Oyo alina kiki eky’enjawulo?

Nnalonda ansinga okulabika obulungi, ate ggwe ndaba nkusinga.

Ky’ogamba omulungi ne bw’aba mwavu nga kiwedde?

Oteebye, nze omusajja omulungi aba amaze ebirala bijja luvannyuma.

Ate bw’aba mulungi bazadde bo ne bamukugaana okola otya?

Nasussa dda emyaka 18 ekitegeeza nti nneesalirawo.

Ky’ogamba omwana oyo y’akusula mu kafuba?

Nedda bambi nkyabeera waffe naye akagwamun lwe tusisinkanye.

Kintu ki kye yali akoze nga bw’okijjukira laavu ye erinnya?

Yampa ssente ne ngulira maama wange eddagala nga mulwadde ate zaali nnyingi kye nnali sisuubira.

Ng’oggyeeko okukuweerera bazadde bo kiki ky’obeebazaako?

Maama yanjigiriza okuba omugumiikiriza.

Bagamba nti abawala abakulidde ku bamaama bammwe muba n’ekyejo gwe okyogerako ki?

Ekyo sikikakasa naye nze sirina kyejo.

Mulimu ki gw’otosobola kukola mu bulamu bwo?

Sisobola kukola bwamaalaya.

Kale ebyo byonna tubiveeko naye nze omutima gunnuma lwa kwegumya ate nga ggwe ddagala.

Owedde kuba eddagala sirina, ekikolo kyakala dda.

Kale ndagiriraako ewammwe najjayo ne nkulabako.

Eby’ewaffe bizibu naye nkuwa amagezi onoonyeeyo omulala, bambi weeraba ηηenze.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...