TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Njagala kulinnya ku bbaati omwaka guno

Njagala kulinnya ku bbaati omwaka guno

Added 11th January 2017

Olwo ng’ogirinnya olaga wa? Era kukolayo ki? Mu America kuba eyo tebabba bululu.

Mukwano weebale kumalako mwaka?

Naawe weebale kugumalako.

Wabula gwanyumye gwe gwakusanze wa?

Wonna we gwansanze ky’oba omanya gwansanze mu maaso ga Mutonzi.

Leka naawe, kati ggwe anyirira bwatyo Katonda okyamwagaza ki, mbu naawe olina ebizibu?

Haha, musajja wattu nnina nange ebyange lwakuba n’okwebaza si kibi.

Wabula mwana ggwe, ye lwaki nkuyita mwana mpozzi ggwe ani?

Nze Shirah Kalungi.

Obeera wa?

Mbeera Muyenga.

Simanyi Kalungi ye balo?

Nedda eryo lya taata.

Ku taata ne maama ani yakusiiga obulungi?

Olwo bw’onoolaba ku maama tootye? Kubanga ye yansunira ku bulungi bwe.

Okola mulimu ki?

Sinnafuna mulimu naakamaliriza okusoma.

Bwemba nfunye omukisa okukufunira omulimu oyagala mulimu ki?

Ky’ogamba olina omulimu?

Nedda naye nnyinza okuba nga nfunye ate omuwala omulungi nga ggwe tayinza kubulwa mulimu.

Njagala mulimu gwa mu ofi isi, sirina gakaddiwa.

Ky’ogamba kasita guba mulimu gwa mu ofiisi tofaayo ku bungi bwa musaala?

Nga sifaayo ku ddiiru ki nze siteeka we sifunira.

Naye ng’ebizibu bingi ku mirimu gya ofiisi egyo gy’oyagala?

Ekyo nkimanyi naye nkimanyi nti enkumbi enywera y’erima.

Haha, okaηηambye ky’ogamba ne bwe kiba kyetaagisa kuwaayo mubiri gwo okukuwa omulimu Onywera n’okikola?

Sha, mbu okuwaayo omubiri gwange awo nzira ewa maama ne ntuula kuba akyasobola okugula gyendya.

Olabika toyagala kulekawo maamawo kati osuubira ddi okuva ewammwe?

Ng’ekiseera ekituufu kituuse era nga mmaze n’okufuna awatuufu gye mbeera.

Awatuufu wafaanana watya?

Ekyo bw’oba oweza emyaka 18 okitegedde leka kunkooya naawe.

Kansuubire olina by’oyigidde ku maama ng’essaawa eno tosobola kumuswaza nga bawala banno.

Nsinze kumuyigirako kuba mugumiikiriza na kwewa kitiibwa.

Naye olina ebikunyiiza kuba ndaba okuva lwe twatandise akaseko tekakuggwa ku matama.

Nze okunsiiya kinnyiiza kuba mba ndaba ng’ekitiibwa kyange okiweebudde.

Kale ebyokunyiiga tubiveeko, Mukama wamusabye ki nga 2017 tannaggwaako.

Ekyo kinene naye mu maaso ga Katonda mmanyi kitono, namusabye kulinnya ku nnyonyi.

Olwo ng’ogirinnya olaga wa? Era kukolayo ki?

Mu America kuba eyo tebabba bululu.

Olabika oyagala ebyobufuuzi, kifo ki ky’owulira ng’okisobola?

Ekyo ekya Rebecca Kadaga, naye bambi obudde buyise weeraba.

Lindako nze mbadde ηηamba nti ompe ku nnamba yo ey’essimunaakukubirako.

Nvaako gwe abasawo baηηaana okwogera ku ssimu tulinyumya ng’ozzeemu okunsanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...