TOP

Ssente ezitavudde mu bwenzi ziwooma

Added 9th February 2017

Bubaka ki bw’owa abavubuka? Bafeeyo okumanya nti ssente ewooma oli mulamu noolwekyo beewale ebikolwa by’obwenzi.

Ndabira wa eyambulako gwe mbadde nnoonya?

Hmm, wabula abasajja!

Ate nkoze ki mukwano?

Onneewuunyisizza okugamba nti onnoonya kuba nze ssikulabangako.

Kale nsaba kumanya ku mannya go.

Wabula otandikidde mu sipiidi ya maanyi.

Kale mukwano mbuulira ku mannya go ne gy’obeera.

Nze Racheal Namiiro, mbeera Makindye.

Neesiimye okusisinkana ku w’Emmamba, nkutwaleko ‘awutu’?

Musajja wattu ng’ozze na maanyi!

Ate lwaki bbebi?

Kati ggwe omanyi biki bye mpoomerwa?

Nja kubiyiga ng’obiηηambye.

Tusooke tunyumye, ebirala nja kukubuulira.

Awo nno nzizeemu ku ssanyu mu mutima. Ye ng’onyirira nnyo?

Anti neegobako okweraliikirira ate neewa emirembe.

Kiki kye weetya ku mubiri gwo?

Nze nnina ‘enthonyi’ nnyingi nnyo.

Tufuuke omuntu omu nzikumalemu.

Omuntu omu otegezaaki?

Okubeera nga nkuyita sswiiti ate nga ggwe ompita ddaali.

Olina kusooka ojje ewaffe obyogereko ne maama.

Kyakulya ki ekitakuyita ku mumwa ng’otambula?

Olusingosingo lw’enkoko lunkolera nnyo.

Wali obaddeko mu mukwano n’omuntu yenna?

Haa ekyo ekibuuzo kyangu nnyo naye ate kizibu nsaba tukireke.

Bubaka ki bw’owa abavubuka?

Bafeeyo okumanya nti ssente ewooma oli mulamu noolwekyo beewale ebikolwa by’obwenzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...