TOP

Buli kimu Katonda yampeesa ebiri

Added 13th February 2017

Buli kimu Katonda yampeesa ebiri

Mwana muwala nga nsanyuse okukusisinkana.

Nange bwentyo, otegedde otya nti oluganda ndumanyi?

Ggwe olowooza bwe mwekweka eno e Kenya ne kibaggyako okubeera Bannayuganda?

Hahaha naye aba Bukedde mulondoola, n’eno mutunoonyaayo?

Ffe bwe tutyo, ye bannange ggwe ani?

Nze Cush Nalwadda nnina emyaka 24.

Kiki ky’okola wano e Nairobi?

Munnange nnina emirimu egy’enjawulo gye nkolera kkampuni emu, nga kitunzi waayo naye ate ne mu Uganda ntera okubeeramu.

 

Kiki ky’osinga okusubwa mu Uganda?

Bakadde bange,n’emikwano gye ndwawo okulaba.

Ky’ogamba n’ekyebbeeyi kyo wakireka Uganda?

Mwana ggwe eby’omusajja bigende mpola.

Mbadde nkyetegereza ate nga nange nkyakola ssente zange okulaba nga ηηenda okufumbirwa nga nninawo ku ssente okulaba ng’omusajja tanjooga.

Ku mubiri gwo kiki ky’osinga okwewulirako nga weebaza Katonda nti yakikuweesa emitima ebiri?

Munnange nze ndaba buli kimu yakimpa era sitoma naye nsinga kumwebazaako ka langi akaddugavu ke yampa.

Ebiseera byo eby’omu maaso obitunuulidde otya?

Nsuubira okuba omukyala omubuulizi w’enjiri ow’amaanyi mu ggwanga, omulimi era omulunzi nga n’ebyobusuubuzi nabyo mbyenyigiramu.

Mbeera ki eri mu Uganda esinga okukweraliikiriza?

Buli lwe ndaba abaana b’omu byalo abatoba n’okusoma n’abo ab’oku nguudo nkulukusa amaziga ne nsaba Katonda, ampe ssente nsobole okubaako be nnyamba.

Kyo ekimu eky’ekkumi okiwaayo?

Ng’omuntu eyava mu maka agalimu eddiini, siyinza kulyazaamaanya Katonda, ekyo kya tteeka nkiwaayo.

Omutima gwo gwejjusa ssinga obeera okoze ekitali kituufu?

Ne bwemba nnina gwe nnyombye naye oba nga mmuvumye ssaako okumunyiigira, bwe nzira gye nsula nfukamira wansi ne nsaba Mukama ekisonyiwo era ne nneenenya mu maaso ge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...