TOP

Okunuuna ssukaali kukyannemeddemu

Added 22nd February 2017

Muze ki ogukyagaanyi okukuvaamu? Okunuuna ssukaali simanyi nti kulinvaamu.

Bbebi nnindaako tukkirire ffembi.

Hmm, tukkirire wa gye twalagaanye?

Naawe tokolera mpisa mbi ku banno!

Kyokka naawe nno weekoza.

Sikwekoza naye olugendo olw’omu lumenya.

Kale yanguwa tugende kuba nnina anninze.

Ate ani oyo akulinze ayagala okunnemesa akadde ke nfunye okwogerako n’omumbejja?

Waliwo mukwano gwange alina by’aηηamba.

Mukwano gwo wa ngeri ki?

Ye ng’onkaza bulala, simanyi oli mbega?

Njagadde kumanya naye siri mbega.

‘Mr. Right’ wange y’anninze.

Sha, naye olabika oyagala bwagazi kulumya banno, kati ebyo oηηamba byaki?

Ate ebyaki?

Ebya ‘Mr. Right’, mpulira nfunye n’ebbuba.

Ate oyagala nkulimbe, nze sirimba era nange saagala bannimba.

 

Kati nze onkoze otya?

Mbadde mmanyi tugenda ffena. Hmm, kankusabire naawe ofune olekere awo okugwira buli gw’osanze.

Sooka nno olindeko, kati bwe nkusanga olulala naakuyita ani?

Ompitanga Sumayah Namugambe.

Mpozzi osangibwa wa?

Namugongo.

E Namugongo okolerayo ki?

Nnyambako muganda wange mu dduuka.

Naye Sumayah ssinga wali kibala wandibadde kibala ki?

Nandibadde muyembe kubanga guvaamu omubisi ogulabika obulungi ate nga guwooma.

Olwo oyo gw’ogenda okusisinkana osinga kumwagalako ki?

Bw’asuubiza atuukiriza.

Baali bakumenye ku mutima, bwe kiba kituufu kyava ku ki?

Kituufu bammenya omutima kubanga gwe nnali njagala yali ayagala abawala bangi.

Bagamba nti omuntu gw’osookerako gw’oba osinga okwagala, gwe wakikola otya okumuggya ku mutima?

Bw’ofiirwa tosula ku malaalo, nawulira ennaku naye ekirungi nnafuna ampummuza oli ne mmwerabira.

Muze ki ogukyagaanyi okukuvaamu?

Okunuuna ssukaali simanyi nti kulinvaamu.

Ndagirira ku dduuka nja kujja nkuwagireko.

Tekyetaagisa kubanga era nkimanyi tojja kujjayo.

Kale mpa ku nnamba yo naakuweereza ku ka mesegi ka whatsapp.

Sijja kugikuwa kubanga ekigendererwa kyo nakirengedde dda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

WORLD POPULATION DAY: Abant...

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu...

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...