TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Nze sikolagana na bantu abalina ekyejo

Nze sikolagana na bantu abalina ekyejo

Added 12th April 2017

Ng’oggyeeko bye weesudiyanga mu ‘School choir’ mbu oyimba, muntu ki omulala eyakusikiriza okuyimba? Mukulu wange omugenzi Sera Sera eyayimba ‘Contagious’ ye yansikiriza era n’okunnyamba.

Otyo musawo nkomyewo biri bye wanzijanjaba luli byawona kati nnina ekirwadde ekirala?

Yogera mangu ekikuluma nnina abalwadde abalala be njagala okusanga.

Musawo ekirwadde ekyange tekyetaaga kupakuka, kindi ku mutima munda nnyo.

Genda mu maaso mbuulira kyakutandika ddi?

Ekyange tekirina budde nze buli lwe nkulabako nga kittuka?

Ani nno gwe weekolezaako nze nzigyako ekyejo munnange.

Eky’amazima musawo ekirwadde ekinnuma kya kwagalibwa, bw’omponya ekyo awo okuziika ne bw’otojje?

Eddagala lye nkuwadde lyakuwuliriza kayimba ka City Martha ke bayita ‘Speechless’ ojja kuwona.

Ha, City Martha naamusanga wa, abo abayimbi b’ennaku zino nga beeraga bw’anampacca oluyi?

Hihi, omuyimbi gw’oyogerako ye nze gw’oli naye wano nga sinnakukuba?

Sooka oleke nkukwateko mpulire, okimanyi nti bulijjo mmanyi abayimbi temuli bantu nga ffe, mwana ggwe obeera wa?

Mbeera Makindye gye nkubira emiziki gyange.

Wabula bwenva wano teri bya kunaaba ngalo okutuusa enkya kuba saagala onsiimuukemu, buyimba ki obulala bwe wakuba?

Waliwo ke bayita Tondekawano, Ze nkola, Cat Walk n’endala nnyingi.

Buli muntu bw’ayimba akayimba abaako ne gw’akayimbira ggwe akayimba ka ‘Speechless’ wakayimbira ani?

Nakayimbira omusajja ali mu birooto byange mpozzi n’abawagizi bange.

Bulijjo wamma mikwano gyange bangiwako nti obuyimba obukubira nze nga mpakana, kati kayimba ki akalala k’otegese okunkubira?

Bakayita ‘Namusika eriyo’. Mwana ggwe kuva ddi ng’onkubira obuyimba bwe butyo? Obwo obuyimba nnabutandika mu 2014 lwakuba ke nasooka kaafa.

Nze buli muyimbi gwe mmanyi alina emmotoka ggwe mu kuyimbi waakagulamu emmotoka mmeka kuba obuluddemu?

Sinnagula mmotoka naye okuyimba nkufunyeemu emikwano, erinnya kati abantu bantegeera, gwe linda omwaka guno we gunaggweerako.

Ng’oggyeeko olunaku lwe wava ku boda n’ogwa, okuyimba okusanzeemu kusoomoozebwa ki mu bulamu bwo?

Mu kuyimba bw’oba tolina ssente ensi tesobola kumanya nti naawe gy’oli ne bw’oyimba eby’amakulu bitya.

Ng’oggyeeko bye weesudiyanga mu ‘School choir’ mbu oyimba, muntu ki omulala eyakusikiriza okuyimba?

Mukulu wange omugenzi Sera Sera eyayimba ‘Contagious’ ye yansikiriza era n’okunnyamba.

Sha, ate leka kunneesomerako naawe, ky’ogamba famire yonna muli bayimbi?

Ffe Katonda yatuweesa ebiri ne Lydia Jazmine mbadde simukugambye.

Kati bwemba njagala okukulabako ng’oyimba ‘Live’ nkusanga wa?

Onsanga ku’ The big Bar’ e Kibuye buli Lwakutaano mbeerawo ne bannange abalala we tutetenkanyiza obulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...