TOP

Anjagala olina kunnoonyeza nsonga

Added 11th May 2017

Sirina kibiina mwennyimbira naye nandyetaaze okwegatta kwekyo ekirina ebigendererwa ebirungi.

FFE abakkiriza Katonda atulagira okwagalana era bwe nkulabye ne nsanyuka kubanga nfunye omuntu buljjo gwe njagala!

Okwagalana kwa mirundi mingi obadde otegeeza kuliwa?

Nkyali muvubuka muto era siri mufumbo ate nga naawe nkulaba toli, olowooza tekitukolera ssinga tutandikira wano?

Kati ηηambe nti nze gw’osookeddeko okulaba mu bawala bonna?

Sisookedde ku ggwe naye obasinga bingi ate nga by’olina tewali abirina.

Mukulu, buli muwala gw’osanga olabika bw’omugamba naye nze tonfunye.

Kati ky’ogamba nti ekirooto kyange tekigenda kutuukirira?

Okyaloota nnyo tonnaba.

Kale bw’oba oηηaanye nfunira yo muganda wo ng’alina buli kimu ky’olina?

Abaliyo bonna tebanoonya gezaako awalala.

Nnalulungi bwe naayagala okuddamu okukusinkana naabuuza mannya ki?

Nze Lyne Katumba naye olina kunnoonyeza nsonga.

Omulimu gw’omu bbanka gy’okola gutambula gutya?

Mukulu nneerabira gye wandaba nze sikolangako mu bbanka ndi muyimbi muto.

Wandyetaaze maneja, kubanga nze wendi okuddukanya ensonga eyo?

Ebigendererwa byo nabitegedde era ndaba toyinza kuba maneja wange mulungi era omulimu tewali.

Kibiina ki ekikulinako obuvunaanyizibwa?

Sirina kibiina naye nandyetaaze okwegatta kwekyo ekirina ebigendererwa ebirungi.

Ssinga ogenda okuyimba ku mukolo omutegesi n’akugamba nti okukukkiriza okuyimba olina kusooka kumuganza okikola otya?

Sisobola kuwaayo mubiri gwange lwa kuyimba.

Kiki ky’otoyinza kugumiikiriza mu bulamu bwo?

Abammanyiira sibagumiikiriza.

Mize ki gy’omanyi ku bawala abato abayimbi?

Beegabangula nnyo olwa ssente.

Olwo gwe okikola otya obutabafaanana?

Mmanyi ebigendererwa byange ate bazadde bange bambuulirira.

Nga bw’oli mukwano gwange nsuubira okuddamu okukusinkana naye nnyinza kukusanga wa?

Mbeera Ntinda mu bazadde bange naye tetumala gaaniriza buli mugenyi, tusooka kubasengejja ne tuzuula abasaanidde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...

Ab'ekkanisa ya Shincheonji ...

Ab'ekkanisa ya Shincheonji baweddeyo omusaayi okutaasa Bannnaabwe okirwadde kya Corona

Abamu ku batuuze ku mayumba gaabwe agali wakati mu mazzi ku mwalo gw’e Kiribairya. Ebif: HENRY NSUBUGA

Ab'e Buyende bakaaba lwa nn...

Abatuuze abawerera ddala okuva ku myalo egy’enjawulo egyetoolodde ennyanja Kyoga mu disitulikiti y’e Buyende beekubidde...