TOP

Nkoona ku kabina olabe...

Added 5th March 2019

Omusajja bwakukuba ku kabina okola ki? Mutunuulira ne nsigala nga ntambula kuba sikyagalira ddala.

Maama nyabo, kiki kino kye ndabako!

Hahaha naye naawe onkanze. Mbadde ndowooza waliwo ekiguddewo.

Ggwe tolaba nti ettaala eyaka tebanaginyiga na swiici?

Wabula bannange oyogera, kati ebyo byonna byaki? Nze bwentyo bwe natondebwa.

Naye ate ekyewuunyisa olinga atalina ky'ogattamu.

Munnange nze seeyongerako ng'abakyala abalala, nazaalibwa n'obweru bwange.

Ehh ku musana guno okola otya obutaddugala.

Katonda bwaba yakuwa ekintu abeera yakikuwa n'omutima gumu. Ekyewuunyisa nze ntambula ne mu musana naye siddugala wadde okukyukako.

Okimanyi ku ngeri gy'otukulamu bakuyiwako amata ne baganywa.

Naawe ate tompaana nnyo kutuuka kw'ekyo.

Kye kituufu era nsaasira oyo asula naawe.

Haha olowooza no gy'ali.

Ehhh. Kale bwe mbadde ndowooza.

Haha alabika gy'ali naye eby'omukwano tubiveeko twogere ku bituzimba.

Njagala kutambulamuko naawe naye nkoze ntya?

Okutambula nange tekwandibadde kubi naye ssinga ontwalako okuwuga, kinsingira ekirala kyonna kuba njagala nnyo okuwuga. 

Naye okimanyi obwedda twogera nga sinakubuuza na mannya go?

Nze Anitah Mbabazi

Naye akwagala akusanga wa?

Mbeera Namasuba naye nga nkolera mu kibuga.

Omusajja bwakukuba ku kabina okola ki?

Mutunuulira ne nsigala nga ntambula kuba sikyagalira ddala era kinyiiza.

Engeri gy'onyirira, abasajja tebakufiirako?

Nedda kubanga nnina gwe njagala omu era ne bwebaba bazze sibawa budde. Abankwana bangi naye si buli omu nti onoomuwa obudde.

Singa wali musajja, wandibadde n'abakyala bameka ?

Omukazi omu yandimmaze. Nandinoonyezza omukyala anjagala era ankulaakulanya kubanga ne bw'obeera n'abangi nga tebalina kye bakugattako tekiyamba. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...