TOP

Eriiso lyange limiza bangi amangota

Added 2nd April 2019

Lyo eriiso lyange limiza bangi amangonta.

WABULA minisita yeetaaga ayongere atutegekereyo empaka endala ezitali eza Miss Curvey.

Haha, bw'obadde awo n'ogamba nti k'oyingirire emirimu gya minisita egy'okukuba ebifaananyi tegikumala?

Sikulimba mwana ggwe okuva lwe watuuse wano bwe nkutunuulira ndaba nga minisita aliko ssente z'atalaba.

Olwo ssinga ggwe minisita obadde ogenda kutegeka ziriwa endala?

Mbadde nja kutegeka eza bamaasombira (Miss eyes).

Haha, wabula nvaako musajja wattu tukube ebifaananyi tuve wano obudde buzibye.

Naye nga tuvudde mu by'olwali waliwo omusajja gw'otunuuliza eriiso eryo n'atakwata mu waleti?

Lyo eriiso lyange limiza bangi amangonta.

Tereera ggwe nze nkukube onoonya bansale ku musaala.

Naye era by'onkubye bimala naawe.

Tofaayo nyumirwa buli lw'okyusa eriiso kambikube kaadi bw'enejjula tunannyuka.  Ye sooka ombuulireko gy'obeera kuba ffe bakasitoma be tukolako tufaayo okumanya gye babeera.

Mbeera Gaba.

Wamma nalabiddewo ng'olabika onyumirwa nnyo okuwuga.

Okuwuga kunyumira naye ate si kyensinga okwagala.

Mbuulira by'osinga okunyumirwa byemba ntandika okukola kuba gwe maama eryo eriiso teriviikako.

Njagala nnyo okugula ebintu (Shopping). Kintu ki nga buli lw'ogenda okugula ebintu toyinza kukyerabira. Cokuleeti kuba ampoomera nnyo.

Obudde bwo obweddembe osinga kwagala kubumala n'ani?

Mbeera ne maama wange.

Shaa, olwo kati bw'onohhamba nti obeera ne balo ebifaananyi ne mbikuba bubi?

Sikyekyo, naye amazima gali nti taliiwo.

Ky'ogamba omuwala omulungi nga ggwe oyinza okubeererawo nga toliiko mulaalo?

Abalaalo bakuba emmigo ate nze ngitya.

 

Ekikulu nammwe abawala ennaku zino muyitiriza okwerondalonda.

Si kweronda naye okupapa si kirungi oyinza okutomera.

Kati gwe gw'ogenda okukkiriza oluvannyuma lw'okwetegereza alina kuba ng'afaanana atya?

Abavubuka abakatakketakke bankolera, mpozzi n'ekirala alina okuba n'empisa ate ng'alagikako ne mu bantu.

Ku musajja omukulu ng'alina ssente n'omuto nga talinaawo otwala aluwa?

Ssente tezinsuula ku nkonge hhenda n'omuto ne tukola.

Mpozzi wahhambye okolera wa?

Nkolera Kabalagala mu Superlife nga kitunzi.

Mpulira nti abakyala tebakyakola mulimu gumu gwe olinayo omulala?

Ngattako n'okuzannya firimu.

Naye n'olususu lunsusseeko, oluliisa mmere ki?

Nsinga kulya muceere n'ebivaavava.

Bawala banno biki bye bakola ebikunyiiza?

Omuwala ageya munne annyiiza.

Ononsonyiwa okukubuuza emyaka gyo naye mpulira nnina okugimanya.

Nze sikweka myaka, nnina 20.

Muzannyo ki gw'osinga okusubwa gwe wazannyanga mu buto?

Okwepena nkyakusubwa.

Maama wo wamuyigirako ki?

Namuyigako okwagala n'okukwata empola.

Ndabira ddala nga tugenda kukola amaka agasingayo obulungi.

Nedda ssebo tukome awo gy'olaga ndabayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya Poliisi ebadde e...

Bino bibaddewo ku ssaawa ssatu ez'okumakya ga leero ku Lwokutaano e Kabowa we bayita ku katale ka Kidomoole ku...

Buli musajja gwe nfuna ande...

NZE Joan Nankya mbeera Kyebando mu zzooni ya Kanyanya. Twasisinkana ne baze my 2017 e Bwaise mu mbaawo nga ntambuza...

Omuwala gwe njagala ang'amb...

NNINA emyaka 23 ate omuwala gwe njagala alina emyaka 19. Omuwala ono kati angamba nti simalaako kubanga tetumalira...

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...