TOP

Obuzibu bwange nnina ensonyi

Added 4th July 2019

Njagala kusooka kumaliriza misomo gyange nfune n’omulimu ogunsasula obulungi ndyoke mbirowoozeeko.

Mwanamuwala kakodyo ki ke weeyambisa okunyirira nange nkagezeeko?

Nnywa nnyo amazzi ate ndi "designer" era ebyokwambala mbitegeera bulungi. Mbadde mmanyi waliwo akuteekamu ebinusu?

Oyo sinnamufuna kuba ndi musanyufu n'engeri gye ntambuzaamu obulamu bwange. Obulamu obutambuza otya?

Anti nkyasoma ate nga tulinayo ne ka bizinensi ka famire ak'okwambaza abantu obuwero obw'akabi mu kibuga.

Ebyo byokka bye bikulemesezza okwefunirayo omuntu akubiita?

Njagala kusooka kumaliriza misomo gyange nfune n'omulimu ogunsasula obulungi ndyoke mbirowoozeeko.

Osomera wa ?

Ku UMCAT.

Akwepikira alina kubeera atya?

Njagala nnyo omuntu ow'amazima ate ng'awa ekitonde ekikyala ekitiibwa.

Ekitegeeza abalina ssente zaabwe tebatawaana kwewandiisa gy'oli!

Kirabika tontegedde bulungi; njagala nnyo ow'amazima ate ng'awa ekitonde ekikyala ekitiibwa kyokka sikugambye nti ebintu ebiralala nga ssente, endabika n'ebirala sibyagala. Omusajja yenna alina okubeera n'obusobozi obulabirira amakaage.

Tubeerako n'ebintu ebisookerwako byoyinza okutandikirako okupima omuntu gw'onoowa omutima gwo wadde nga n'ebirala obeera obyetaaga.

Bintu ki abasajja bye bakola ne bikunyiiza?

Okukwatirira abakyala naddala okubakuba ku kabina n'okubasiiya.

Kati ssinga omuntu akikola?

Mbeera mpulira nga njagala kumutaagula nga bw'olaba engo bw'ekola ekirungi mbadde sinnafuna ekikola musomese empisa z'omu bantu.

Mpulira ku UMCAT wasomerayo bannamawulire, oyagala kufuuka omu kw'abo ?

Kituufu njagala kuba munnamawulire. Ekitegeeza bakwesunge okukulabako ku ttiivi! Njagala nnyo okukolera leediyo kuba ninamu ensonyi eziyinza okunnemesa okutunula obulungi mu kkamera za Ttivvi ng'ate nnina eddoboozi erisobola okukola obulungi ku leediyo.

Kati ggwe alina ensonyi onoosobola okutunula mu maaso g'omulenzi wo ssinga olibeera omufunye?

Buli kimu tuyiga kiyige mu nsi era tomanya oba we ndimufunira ziribeera zaggwaamu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...