TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku basajja abakaka bakazi baabwe akaboozi

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku basajja abakaka bakazi baabwe akaboozi

Added 15th October 2019

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga olwo nga bamusalira.

 Omusajja ng'akaka omukazi akaboozi.

Omusajja ng'akaka omukazi akaboozi.

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly'etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga olwo nga bamusalira.
 
  • Omuntu ssinga asiba munne n'amuggalira mu bukyamu ng'alina ekigendererwaoba okumuwonya embeera embi gy'alimu abeera azzizza omusango era bwe gumusinga asibwa emyaka 10 oba okuwa engassi etekka wansi wa 5,000,000/- oba okukola ebibonerezo byombi.
  • Okutigaatiga ebitundu by'omubiri ebyensonyi ng'amabeere, ebisambi, oba okubiraga abantu abalala oba okubyogerako ng'olina ekigendererwa ky'okumuswaza osobola
  • Omuntu yenna ssinga akola ekintu ekiyamba okunafuya omuntu n'asobezebwako gamba ng'okukozesa kalifoomu asobola okuvunaanibwa era n'aweebwa ekinonerezo kya kusibwa emyaka musanvu okusibwa omwaka mulamba oba okuwa engassi ya mitwalo 48 oba okukola ebibonerezo byombi.
  • Omuntu yenna alina obuyinza bw'akozesa ofiisi ye okusendasenda omuwala okumwagala olw'okumusuubiza ebintu ng'okumuwa omulimu, okumukuza ky'okumusobyako bw'akwatibwa ne gumusinga asibwa emyaka musanvu.
  • Omuserikale ssinga asobya ku musibe oba n'abeerako engeri yonna gy'amusendasenda aweebwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka musanvu.
  • Okwegatta n'omuntu atannaba kwetuuka abeera azzizza omusango era asobola okusibwa emyaka 18.
  • Ssinga weegatta n'omwana atannaba kwetuuka nga tannaweza myaka 18, omwana aliko obulemu, ng'obadde olina obuvunaanyizibwa ku mwana okumulabirira, ng'obadde muzzi wa misango wa lulango, ng'omulinako oluganda oba eyakutte ng'alina obulwadde bwa siriimu bwe gukusinga osibwa obulamu bwo bwonna (okusibwa amayisa).
  • Omuntu yenna okuwa omwana atanneetuuka ekintu mu bukyamu oba okumulaga ekintu ekiraga obuseegu bwe gumusinga asibwa emyaka 10.
  • Omuntu yenna akkiriza omwana okubeera mu bwamalaaya ng'akimanyi oba n'akkiriza okuyingiza omwana mu bwamalaaya asibwa emyaka 10.
  • Omuntu ssinga anyumiza akaboozi mu kifo ng'abaana balaba oba okulaba abaana ebifaananyi by'abanyumya akaboozi asibwa emyaka 10.
  • Ssinga okwatibwa ng'obadde ogezaako okwegatta n'omwana atannaba kwetuuka bwe gukusinga osibwa emyaka musanvu.
  • Okuggyako ng'ofunye olukusa lwa kkooti tewali akkirizibwa kulaga mannya, endagiriro oba ekirala kyonna ekiraga omuntu asobezeddwaako. Kino kikwata n'amawulire era ssinga gukusinga osobola okutanzibwa emitwalo 24 oba okusibwa emyezi mukaaga oba okukola ebibonerezo byombi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...