TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Essanyu n'ebinyiizo ebibaawo ku Valentayini

Essanyu n'ebinyiizo ebibaawo ku Valentayini

Added 14th February 2020

Waliwo n’abaatandise olusirika okulemesa munne okunyega ku Valentayini oba okwefuula abalwadde n’abandi okuteekawo eηηendo ezitali ntongole.

 Katumwa ne mukyala we nga beeraga amapenzi.

Katumwa ne mukyala we nga beeraga amapenzi.

Essanyu n'ebinyiizo ebibaawo ku Valentayini

BULI February lw'atuuka, abaagalana abamu baba ku bunkenke nga basala entotto ku ngeri gye bagenda okukuzaamu olunaku lwa Valentayini olubeerawo leero nga February 14.

Abalina abaagalwa abawerako batandikirawo okukuba pulaani ku ngeri gye banaawetamu abamu ekikuubo, okwewala okufuna ebisago by'olunaku.

Waliwo n'abaatandise olusirika okulemesa munne okunyega ku Valentayini oba okwefuula abalwadde n'abandi okuteekawo eηηendo ezitali ntongole.

Ate kw'abo abali mu mukwano ogw'ekimmemmette, buli omu ayiiya akalabo k'anaawa munne ne kamunogaana bulungi n'engeri gyanaamulagamu kyangu nga bwe kisuubirwa, era bangi bafuna okucankalana n'abalala okukyayibwa.

Olunaku lwa Valentayini gye lukomye okuzza obuggya omukwano gw'abaagalana abamu gye lukomye n'okumenya bangi emitima ne batuuka n'okulwevuma olw'obunkenke obubeerawo.

Waliwo abaagalana abasuubira okufuna ebintu ebingi okuva eri bannaabwe kyokka ne bitatuukirira olwo ne balowooza nti tebabaagala.

OMUSAJJA YANTAMYA VALENTAYINI Leilah Zalwango omu ku bawala abacakaze b'omu Kampala, Valentayini y'omwaka oguwedde katono emukutule omutima olw'omwagalwa we gwe yali yeesunze okumalako naye olunaku obutalabikako. mpeereza mukwano gwange e Dubai angulize ebirabo omwali:

 kikopo eilah kye yali agulidde muninkini we Ekikopo Leilah kye yali agulidde muninkini we.

 

Ekikopo eky'omulembe nga kuliko ekifaananyi kyange naye, eccupa y'amazzi ng'eriko ekifaananyi kye, obuwale bw'abasajja obw'omunda, swiiti n'ebirala. Kuno nagattako okugula essaati n'ebitengi eby'omulembe okuva mu badizayina ab'amannya.

Bino byonna nabikola nga njagala okubaako ekyenjawulo kye mukolera n'okumulaga nti ddala mufa bitole kyokka teyalabikako era nakitegeera luvannyuma nti alina muninkini we gwe yali naye.

Yali asula Kitintale nga nze nsula Lungujja era twali tuteesezza okujja ewange tumalireko eno olunaku.

Ebirabo byandibirira era olunaku olwo seebaka ttulo nga nfa obusungu. Naddamu okumulaba nga wayise ennaku biri.

Embeera eno teyakoma ku kya kuntamya lunaku luno wabula n'abasajja kati mbalaba bulabi.

VALENTAYINI EFUDDE OMUKWANO EKYENFUNA Abasajja n'abakazi bangi beesunga olunaku luno si kulaga baagalwa baabwe laavu wabula okubacanga n'okubakolamu ssente. Ng'oggyeeko okwesanyusaamu nabo abasinga babala birabo na ssente era olunaku lugenda okuggwaako nga tebatoma.

Waliwo n'ababatwala mu bifo eby'ebbeeyi gye basaasaanyiza omusimbi ku byokulya n'okunywa ssaako ababakuula.

Nafuna ebimuli bina, ebirabo ne ssente ku lunaku lumu Mariera Basa ng'amannya ge amatuufu ye Mariam Ndibassa ow'e Makindye, valentayini ya 2017 tagenda kugyerabira olwa ssente n'ebirabo okuva mu basajja bye yafuna.

Lwakya ng' olunaku olulala era ku ssaawa 3:00 ez'oku makya nali waka nga nnaaba ne bampita nti nnina omugenyi wabweru.

Okufuluma nga ndaba omu ku bavubuka abaali bantokota andeetedde ekimuli n'ebirabo ebirala.

Ku ssaawa z'amalya g'ekyemisana.

Omuvubuka omulala yaleeta ekimuli n'ebirabo ebirala wabula ng'ono baali bamutumye butumi.

Ku ssaawa 11:00 nga ndowooza ani ku bano gwe ng'enda naye awutu, akawungezi nagenda okulaba ku ssimu nga waliwo antereddeko ssente n'obubaka. Waali waakayita eddakiika nga ttaano ng'amaze okuzisindika naye n'atuuka mu mmotoka.

Omutima gwasooka kunkuba nga muli nneebuuza eky'okukola, yafuluma mu mmotoka n'essanyu ng'akutte ekimuli n'ebirabo ebirala mu nsawo n'afukamira mu maaso gange n'abimpa.

Ekyaddirira kwali kukaaba nga mpulira akoze kye mbadde sisuubira.

Mu butuufu ono yampangulirawo omutima ebirowoozo ne mbijja ku bali abaasooka okusindika ebirabo ne mbizza kw'ono era gwe nagenda naye awutu ku Serena Hotel.

Engeri ebimuli gye bikyusaamu emikono Ebimuli kye kimu ku birabo ebisinga okugabibwa ku lunaku luno era abamu bw'otamuwa kimuli ayinza okukunyiigira.

Kati yafuuka nkola eri abo abacanga abakazi oba abasajja okubiwaanyisa.

Oyinza okwekanga ng'ekimuli kye waguze n'okigaba ku makya we buwungeerera ng'ate kikomyewo gy'oli.

Abalina abaagalwa abasukka mw'omu tebakyagula bimuli kugabira buli omu, oli alinda kye bamuwadde naye kyagabira omulala osanga ekimuli kimu nga bakigabye mu bantu abasukka mu bana.

Enkola eno esinga kubeera mu bavubuka ba yunivasite n'abo abakwanakwana oba abawala abacanga abasajja.

Nga watuuseeko mu bifo ebimu nga ofiisi, enkeera nga valentayini ewedde oyinza okwewuunya ng'olaba ebimuli ebisuuliddwa ku kasasiro.

Abamu baba batya okugenda n'ebimuli bino awaka obutakyankalanya baami baabwe ne bakyala baabwe.

 eilah ngakyali mu laavu nomusajja eyamuyiwa Leilah ng'akyali mu laavu n'omusajja eyamuyiwa.

 

Obubaka bw'oku ssimu bubeera bwe bumu Okufaanaganako n'ebimuli n'obubaka bw'oku ssimu teweewuunya ng'omwagalwa wo kaakuweereza olwaleero wabufunye dda.

Olw'obutaba na budde, obutayiiya n'abamu obutafaayo kuba laavu gye balimu ya kiyaaye, abantu balinda bubaka bwa laavu bwe babaweerezza nabo bwe baweereza abalala era tekikwewuunyisa okulaba ng'obubaka bwe waweereza ku makya nga bazzeemu okubukuweereza.

Omusiraamu owa hakki esukka mw'emu akikola atya? Wadde ng'abasajja Abasiraamu bamanyiddwa okugabira bakyala baabwe ebisanja, ku lunaku lw'abaagalana abamu bakyusaamu.

Bwe kuba kugenda awutu batambula ne hakki zaabwe zonna okulaba nga babawa laavu ey'ekyenkanyi. Kino kikolera abo ng'abakazi bakwatagana.

Kyokka waliwo n'abo abasalawo okutambula n'oyo nnannyini kisanja oba gw'ayagala ennyo abasigadde n'abalaba olulala.

Ye Hajji Muhammad Kamoga alina hakki ssatu: Bwe yabuuziddwa bw'ateeseteese okukuza olunaku luno yagambye nti: Nze buli lunaku ewange ebeera valentayini era buli lwe mbeera ne hakki zange tubeera mu mukwano kati abo abatafuna kaseera kalungi n'abaagalwa baabwe ndowooza be beesunga okukuza olunaku lwa leero.

Ekirungi lunaku lwa Juma, ng'enda kukeera ku muzikiti era nsuubira hakki zange zonna okunneegattako.

 

Buli omu agenda kujja nga yeevuga era Juma bweggwa nga buli omu addeyo ewuwe. Ebirabo ebiwoomesa omukwano ku Valentayini Olunaku lw'abaagalana lukuzibwa kumpi mu nsi yonna era amawanga agamu nga Bungereza baalufuula lwa kuwummula.

Wano mu Uganda lwatandika okukuzibwa mu 1990 era Omubaka Peter Ssematimba eyali omukozi ku leediyo emu mu biseera ebyo ye yasinga okulumanyisa abantu. Ekisinga okunyumisa olunaku luno bye birabo abaagalana bye beetonera.

Kino kitegeeza nti olina okuba omuyiiya ennyo okutonera munno akalabo akanaamusanyusa, ate nga kalaga omukwano.

Okunyumirwa valentayini olina okuba n'omwagalwa omu David Katumwa owa Katumwa Sports Center y'omu ku beesunze olunaku luno era agamba azze akuza valentayini okuviira ddala mu myaka gya 1990.

 amoga nomu ku bakyala be Kamoga n'omu ku bakyala be.

 

Agamba okuva lwe yava ku laavu ya lejjalejja n'awasa mukyala we, Joan Muwanguzi olunaku luno lumutambulira bulungi era ne pulogulaamu ya leero baamaze dda okugikola.

Ateeseteese okumugulirayo ebirabo ate akawungezi bacakalemu.

Bw'omubuuza kyasinga okujjukira ku lunaku luno asumululirawo emboozi y'omuwala eyamukyawa ku valentayini ya 1997 olw'obwavu ng'akyakola mu katale ka Owino. ‘‘Nakwana omuwala eyali atuguza caayi era olunaku olusooka lwe twali tutegese okusanyukira awamu lwali lw'abaagalana.

Yali mubalagavu nga ne ffiga yeeyo.Okumanya nnali mwesunze naye ng'asuubizza okundaga omukwano namugamba asabe mukulu we gwe yali abeera naye amukkirize wiikendi tugimale ffembi anti valentayini yaliwo ku Lwakutaano.

Yantegeeza nga bwe baali bamukkirizza era twannyuka ffembi ne tugenda e Makerere Kivvulu gye nnali mpangisa akazigo.

Nagenda nneesunga kusula ‘mu ggulu' kyokka kyanzigwaako bwe twatuuka ne nzigulawo omuwala bwe yalaba nga nsula wansi temuli wadde entebe ne yekyanga.

Yahhamba kimu nti "mbadde nneerabidde baaba yang'aanye okusula ebweru era yakoma ku mulyango naddayo''.

Oluvannyuma yahhamba nti yali amanyi ndi bulungi era nninamu ku ssente olw'embeera n'ekifaananyi kye nnali ndaga ku mulimu kyokka kye yalaba awaka kyamukuba wala kubanga ye tayagala basajja baavu.

Kw'olabira akufera ku valentayini Okukakasiza ddala nti valentayini ekusaze bwe budde okuziba ng'omuntu gw'obadde weesunga oba ekirabo ky'obadde weesunga tonnakirabako yadde okumuwuliza.

Moses Kirabira agamba abafere ba laavu we batuuse kati tebakyalinda lunaku luno kutuuka atandika okwekwasa oba okuteekawo embeera ng'ebula ennaku okulutuukako oleme kumutawaanya ku lunaku olwo.

 ariam dibassa alojja Mariam Ndibassa alojja.

 

Bano bakola ebintu bingi omu n'okubika ab'enganda zaabwe, ekuteekawo eng'endo z'ewala, okulwaza n'okwerwaza, pulogulaamu z'oku mulimu nakulaga nti bazimusuddeko, abamu baggyako amasimu n'ebirala bingi. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

WORLD POPULATION DAY: Abant...

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu...

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...