TOP

Ng'enda kubeera musawo atasosola

Added 20th February 2020

FFIRIMU ki eyo gy’olaba ekututte ebirowoozo? Ekinsanyusizza okitegedde nti bwe mba ndaba ka “After” saagala anzigya ku mulamwa kuba ne bwenkalaba emirundi kikumi sikakoowa. Ofaayo bw’ombuulira ku mannya go? Nze Jemimah Nakiberu mbeera Ndejje

Ng'enda kubeera musawo atasosola

FFIRIMU ki eyo gy'olaba ekututte ebirowoozo? Ekinsanyusizza okitegedde nti bwe mba ndaba ka "After" saagala anzigya ku mulamwa kuba ne bwenkalaba emirundi kikumi sikakoowa. Ofaayo bw'ombuulira ku mannya go? Nze Jemimah Nakiberu mbeera Ndejje.

Jemi ng'oli musanyufu wasemba ddi okukaaba? Nze nkaaba nnyo kati siyinza kukulimba ddi lwe nasemba.

Kintu ki ekiyinza okukukaabya n'omala olunaku lulamba? Kasita mbeera nga nnanyiizizza bazadde bange kinnuma kuba njagala nnyo okubeera nga ndi musanyufu nabo buli kiseera.

Ng'oggyeeko okufumbira bazadde bo emmere, okola mulimu ki omulala? Ndi muyizi ku ttendekero erimu mu Kampala era nsoma busawo.

Bw'onoomala okusoma n'ofuuka omusawo, kintu ki ky'otolikola? Nze sirisosola mu balwadde; omwavu n'omugagga njakubayisa kye kimu.

 

Olowooza lwaki abawala abamu balemwa okutuuka ku birooto byabwe oluusi ne batamalako na misomo gyabwe? Abawala okwagala ennyo ssente ezaamangu kibasudde ku bizibu era mbasaba bakomye okwagala eby'obwereere.

Abasajja abaganza abaana b'amasomero olowooza beetaaga kibonerezo ki? Ekikulu ndi mukyala mukkiriza ate Bayibuli tetukkiriza kusalira bantu bannaffe misango wadde nga nkivumirira.

Ng'oggyeeko okuseka kintu ki ky'otosobola kumalako lunaku nga tokirowoozezzaako? Buli lunaku ntwala akadde okusabira bazadde bange n'eggwanga lyange. Ku mubiri gwo kiki kye wandisabye Katonda akwongereko ssinga wabaddewo omukisa gw'okumusanga? Haaahaaa, nandimusabye annyongere ku ntumbwe.

Waηηambye oli mukyala mukkiriza, bwemba nga nkwagadde biki by'oyinza okusinziirako okunzikiriza? Mu byonna omuntu atya Katonda asinga abagagga abalina kalina era olina okuba ng'okulembeza Katonda wadde kati si kye kiseera ekituufu nkyali ku mulamwa gwa misomo.

Ng'enda kubeera musawo atasosola Birungi ki by'oyigira ku maama wo nga bw'olikula naawe ojja kufuba okulaba ng'abaana bo obibayigiriza? Ekisooka maama wange mukyala mukozi, mumalirivu ate alina empisa.

Ebyo byonna nkakasa mbirina era ne bwe ndiba nfunye abaana ndi bibayigiriza. Kale tumirayo abantu basatu.

Abayimbi ba kkwaaya ya Golden Gate ekulirwa taata wange Mw. Kizito, muganda wange Kizito ne mukwano gwange Trevor.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...