TOP

Omusajja alemeddwa okuzimba

Added 15th January 2019

Tumina abaana bataano naye tukyapangisa.Omusajja alemeddwa okuzimba, njagala kumuleka nfune omulala.

Tulina baana batano n'omusajja, naye tulemedde mu muzigo. Omwami wange afuna ssente kubanga alina boda bbiri naye ennyumba emulemye okuzimba. Ate nga tulina akabanja ke tusoboola okuzimbamu ennyumba. Nze ndi waka sikola kubanga abaana bangi nina okubalabirira. Kati Ssenga nfune omusajja omulala ono muleke n'abaana be?

Mbadde ndowoooza nti abaana abo naawe babo. N'ekirala bw'osalwo okufumbirwa omusajja olina okumanya nti ng'omusajja alina obunafu bwe era naawe nga bw'olina obunafu bwo. Olina okukkiriza nti oyo ye musajja gwe wasiima era mulina okuyita mu bizibu mwembi. Kigambo kuzimba nnyumba si kyangu nga bw'ogamba. Sigaanyi alina boda bbiri naye tomanya ayinza okuba nga ssente tamanyi kuzitetenkanya kulaba nti azimba. Abantu bangi n'abalina ssente ennyingi okuzimba kubalema. Noolwekyo ensonga eno gikwate mpola. Okusookera ddala abaana b'oyagala okulekawo naawe babo, era olina obuvunaanyizibwa ku baana abo. Ekirala kigambo kuzimba nnyumba naawe kikukwatako. Sigaanyi obuvunaanyizibwa bwa musajja okusinga naye tulina okuyambagana. Ennaku zino abakyala abalinga ggwe bazimbye amayumba. Olina okwebuuza amayumba bagazimbye batya? Ogambye nti ggwe obeera waka naye era waliyo abakyala ababeera awaka naye nga bazimbye amayumba. Abakyala bangi ennaku zino abalina bu bizinensi nga buli waka. Mwana wange mulina okuyiiya ne munno okuzimba kubanga ate n'ekibanja mukirina. Okufuna w'ozimba oluusi we wazibu naye musobola okuzimba mpola mpola. Ate musobola n'okuyingira ennyumba nga tennaggwa. Buli kintu kyetaaga buvumu era bw'olaba nga munno munafu mu nsonga emu oba endala ggwe olina okusitukiramu n'okola ekisaanidde.


 amaaka. Nkubira wongere okwogera kusonga enno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...