
Omuwendo gw'abaagalana abatya okukola embaga gulinnye ebitundu 60 ku buli kikumi okuva mu 2002 okutuuka kati.
Kino kitegeeza nti abantu bangi abali mu bufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa oba okuba nti kati abasajja bazaala mu bakazi abaana ne babaleka awo. Ekimu ku bireese kino bye byenfuna abaagalana bye bataddemu okusindana nga beepimira ku mitindo gy'embaga za bannaabwe. Olw'okuba balaba nga tebannaba kuzituuka, bo ne bawoza "tugire tulindako" gye biggweera nga bakaddiye embaga zibalemye okukola.
Bino bye biri mu kunoonyereza okwakoleddwa ekitongole kya BRIDEBOOK ekiri mu Bungereza.
Ekitongole kino era kyazudde nga emirundi mingi abawala be bakazaalabulwa. Kubanga beegwanyiza abasajja abafumbo kubanga baba balinawo ke balina ne baleka ab'emyaka gyabwe. Kale ate ng'abasajja bano baba tebakyayinza kukuba mbaga mulundi gwakubiri. Okukkakkana nga bazaalidde mu mizigo kubanga abasajja bano baba tebalina we bayinza kubateeka.
Ate n'abazadde abamu balwenyigiramu. Bakuza abaana baabwe abawala nga babakomekkereza nga bwe bateetaaga kubaleetera bako baavu. Kati mu kukandaalirira nga banoonya abasajja abalina lupiiya, ne beesanga nga bakaddiye nga tebafunye ali ku ddaala lya bugagga abazadde lye baagala. So ng'omusajja omuto aba alina ebyo ebitono ggwe ate yandifunidde mu lubuto lwa nnyina?!
Kyokka okunoonyereza kuno n'abasajja tekwabatalizza. Bo okwagala okwetuluba we balina obuzibu. Bwe baba n'abaagalwa baabwe, boogerera mu bya bbeeyi, era ne balaga nti n'okwanjula bwe kuteekwa okuba. Kati buli lw'afuna ekirowoozo okutukuza obufumbo, ng'alaba nga byabaddenga ayogereramu eby'ebbeeyi tabirina, ng'akwongezaayo.
Abaanoonyereza era baakubidde nga bagamba nti akabaate akasinga kali ku mukazi okusooka n'azaala. Kubanga atandika okwagala okuzzaako omwana we ng'awoza "akaana kange n'akazaala kokka...!" Kumbe akaddiwa.
Okunoonyereza era kwazudde ng'emigogo gy'abagole egigattibwa mu masinzizo gikendedde so ng'ate obungi bw'abantu bweyongera buli olukya,
Kyokka ng'ate nabo ababa bagattiddwa oba okuwoowebwa abaawukanye bonna bongera kugezza muwendo gwa bakawundo kakubye eddirisa.