Ebyembi, ebintu ebimu ebisanyusa naddala abakulu, by’ebifaananyi n’obutambi bw’obuseegu. Okumanya abantu banyumirwa obutambi n’ebifaananyi eby’engeri eno, y’ensonga lwaki essimu zaabwe bazissaamu ‘paasiwaadi’ enkakali, sikulwa ng’omuntu agibikkula n’agwa ku buseegu bw’agitambulizaako.
Abasajja abamu batuuka nga tebakyalina bwagazi eri bakazi baabwe
Dokita Samuel Christopher Batambuze owa Alpha Clinic e Nakulabye, agamba nti abantu balaba obutambi kyokka bangi tebamanyi nti bulina engeri gye bubakosaamu;
Obutambi butuma omuntu abulaba okwenyigira mu kwematiza: Omuntu ky’akola bw’abeera ku kavidiyo kano kyangu okwenyigira mu kikolwa ky’okwematiza ekireetawo okukendeera kw’amaanyi g’ekisajja.
Dokita Batambuze agamba nti waliwo okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko ne kuzuula nti, abasajja abali wakati w’emyaka 20- 40, bangi abafuna ekizibu ky’obutabeera na maanyi mu kisenge, ekimu ku byasongebwako okuba nga kye kireese embeera eno okweyongera kwe kwemanyiiza okulaba ebifaananyi n’obutambi bw’ekikulu, wadde nga waliwo n’ensonga endala ezibuza amaanyi g’ekisajja.
Kiviirako okubuza obwagazi eri munno. Omusajja yeesanga nga bw’abeera ne mukyala we mu kikolwa tawangaalira mu kisaawe kubanga obwongo bwe buba bwamanyiira kwemazisa.
Omusajja nga yebbirira okulaba akatambi k'obuseegu
Kino kibaawo kuba obusimu obuleetera omuntu butuuka nga tebukyasituka olw’okubanga amazzi gali gaweddemu ate abamu bakola okwemazisa nga tebalya bulungi. Abasajja abasinga buli lw’atandika okwenyigira mu bikolwa bino naddala abafumbo, ekiseera kituuka ng’akatambi kamumalira ensonga ze ate bwe gutuuka ku musajja atayagala baana oba kuzaala kisukka.
Okufuna emize gy’otobadde nagyo. Kyangu nnyo omuntu abadde alaba akatambi okutuusa ku muntu ogw’obuliisamaanyi, kubanga abeera ayagala ekiseera ekyo ky’abadde alaba akikolerewo olw’obwagazi obujjira mu katambi.
Waliwo obulabe bw’okulwala kkansa nga kivudde ku kulaba butambi. Kino ku baami kiggyawo nti mu kiseera ky’okwematiza, gy’akoma okusika olususu oba ekiriba ky’obusajja nga bw’abuzza, afuna okunuubulwa munda ate oluusi amabwa ne gatuuka nga tegakyawona n’afuna ‘Uretheral Cancer’.
Abakyala mu kulaba obutambi bafuna obwagazi bw’okwemazisa era abamu bakozesa ebintu eby’enjawulo nga bbiring’anya, amenvu era ayinza okwefumita oba okwekoona olw’obwagazi obungi obubaawo n’akosa nnabaana. Ate amabwa ago gatuuka nga tegakyawona okukkakkana nga muvuddemu ekika kya kkansa wa nnabaana.
Abamu bayiga emize gy’okukola akaboozi mu bifo ebikyamu: Olw’ebyo bye balaba mu butambi, weesanga nti ate baagala okubikola okukkakkana nga bibakosezza mu bulamu bwabwe, ekiyinza okukosa oyo gw’abeera naye.