TOP

Ssenga nkole ntya okumusanyusa?

Added 21st February 2011

SSENGA gyebaleko, omusajja yaηηambye nti simusanyusa mu buliri. Kati nkole ntya? Mbadde bulungi era nga mbeera n’abasajja naye teri yali akiηηambye.

Micheal Ezra wiiki ewedde poliisi yamuyoola n’emukunguzza okutuuka mu kkooti gye yaggulirwako omusango gw’okugaba ceeke y’ekikwangala ya doola za Amerika 200,000.

Munnamateeka wa Ezra, Mw. Christopher Kenyariri ye yasabye kkooti omuntu we okweyimirirwa n’agitegeeza nti muntu wa buvunaanyizibwa atayinza kudduka singa anaaba yeetaagibwa.

Omulamuzi Martin Muya yayagadde okumanya oba Ezra alinawo ku kantu konna mu ggwanga lya Kenya kkooti kweyinza okusinziira okumwesiga emukkirize yeeyimirirwe.

Wano munnamateeka wa Ezra yasituse mangu n’ategeeza omulamuzi nti omuntuwe mugagga ekimala nti mu bimu ku by’obugaggabwe mwe muli amayumba mu kitundu kye Nyari mu kibuga Nairobi ate ng’alina ne bizinensi ez’enjawulo mu Kenya era nga musuubuzi ali ku ddaala ly’ensi yonna.

Oluvannyuma lw’omulamuzi okuwuliriza bino yakkirizza Ezra okweyimirirwa n’amulagira okudda mu kkooti nga March  7.
Omu ku baabaddewo nga Ezra afuluma ekkomera, ye mukyalawe Grace Mulyowa eyategeezezza nti bukya bba akwatibwa abadde takyebaka.

‘Luno sirirwerabira’ Mukyala Ezra bwe yategeezezza wabweru wa kkooti amangu ddala bba yakateebwa.
Wabula Ezra yabadde afuluma ekkomera e Kenya, ate mu Kampala bannanyini woteeri emu ne bagenda mu kkooti nebamuwaabira omusango gw’obutabasasula ensimbi zaabwe eziwerera ddaka doola za Amerika 6000 zeyasulira natasasula,

Bannanyini woteeri eyitibwa Khalifa beebaatutte Ezra mu kkooti nga bagamba nti wakati wa June ne September omwaka oguwedde yasula mu woteeri eno n’abawa ceeke eriko nnamba 002165 nga yali ya banka ya DFCU kyokka n’ebuuka.

Bannyini woteeri eno baalopye nga bayita mu kkampuni eyitibwa Benzina (U)  Ltd era nga baayise mu bannamateeka baabwe aba M/S Muwema &Mugerwa Advocates.

Ezra era alina emisango emirala egiwerako egimuvunaanibwa mu Uganda nga gyonna gyekuusa ku by’amabanja nga mu bamubanja kuliko n’abekitongole kya URA nga waliwo ne kkampuni ya MITTCO  International gye yawa ceeke ey’ekikwangala n’ebuuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...