TOP

Muganzi wange mmukole ntya?

Added 31st October 2011

Ssenga omuwala ansobedde. Bwe tuba tugenda okwegatta tafuna bwagazi okuggyako nga mmukutte bukwasi. Kino kiva ku ki era mmukole ntya?

Muganzi wangemmukole ntya?

Ssenga omuwala ansobedde. Bwe tuba tugenda okwegatta tafuna bwagazi okuggyako nga mmukutte bukwasi. Kino kiva ku ki era mmukole ntya?
Wako e Iganga.

Wako, okusookera ddala okukwata omukazi musango gwa nnaggomola. Ne bwe mubeera bafumbo oba nga mwagalana, kikyamu munno okumukaka akaboozi. Mulina kusooka kuteesa.

Ogambye nti tafuna bwagazi; kino kitegeeza n’amazzi g’ekyama agalaga obwagazi tagafuna. Olina okumuteekateeka obulungi ng’omunoonya n’okumunywegera.

Nkakasa bw’aba  akwagala ,ajja kufuna obwagazi era mwegatte bulungi munyumirwe. Ekirala, oyinza okuba ng’oli mu mukwano n’omuntu atakwagala. Kino nakyo kimuleetera obutafuna bwagazi.

Sikyanyumirwa kaboozi


Mukazi wange mu kusooka yali tasiriiza ntamu wabula kati asiriiriza ddala era sikyanyumirwa kaboozi. Ssenga kino kiva ku ki?

Omukazi okusiriiza entamu kitegeeza butafuna mazzi ga kyama. Bw’aba nga munno embeera eno yaakagifuna, wateekwa okubaawo ekizibu.
 
Alabika takyanyumirwa oba obwagazi bw’alina gy’oli bukendedde. Sooka weetunulemu olabe oba olina kye wamukola n’akunyiigira nga kati okunyumya akaboozi naawe atuusa luwalo.
 
Ate bw’aba omukalu, ayinza okukunuubula n’ofuna amabwa ku busajja.

Lwaki sifuna mazzi ga kyama

Sifuna mazzi ga kyama era omusajja ne bw’annoonya atya ng’akozesa olugalo tewaba kijja. Ssenga nkole ntya okufuna amazzi?

Mwana wange, buli mukazi atondebwa ng’asobola okufuna amazzi mu bitundu bye eby’ekyama bw’aba afunye obwagazi.
Omusajja bw’aba akunoonya kyokka nga tomwagala, era tosobola kufuna mazzi ga kyama.
 
Ekirala, olabika bwe muba mwenoonya ne munno waliwo embeera ekweraliikiriza oba ng’omutima si mutereevu. Olina okusooka okukola ku ndowooza yo ku ky’oliko.

Ekirala, weggyeemu endowooza  nti ne bwe banaakunoonya tojja kufuna mazzi. Mpozzi, era munno agezeeko obukodyo obulala nga okukunywegera omubiri gwonna. Oboolyawo ebitundu ebisumulula obwagazi bwo tebiri wansi mu nabunnya.

Afunye olubuto bamumanyira ku ki?

Ssenga omanya otya nti ofunyisizza omuwala olubuto kuba nze sirina kye mmanyi? Nze Isaac.

Isaac, abasajja bangi batya okubasiba abaana. Kizibu okumanya nti leero nneegasse n’omuntu era afunye olubuto. Ekisookera ddala, munno y’ayinza okumanya nti yandiba ng’afunye olubuto olwo n’akutegeeza.

Mpozzi, bwe muba muludde nga muli mwembi, ayinza okufuna enkyukakyuka nga okusesemasesema, okuwanda amalusu, okuyoya ebintu by’abadde tatera kwagala n’okulwalalwala.

Naye bino byonna okubikakasa, alina kusooka kugenda mu ddwaaliro ne bamukebera era bano be bazuula oba ali lubuto oba nedda.

Muganzi wangemmukole ntya?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...