TOP

Omusajja agaanyi okujjanjaba omwana

Added 4th April 2012

Omusajja gwe mbadde njagala okuzaama anneefuulidde mu kiseera mwe nsinga okumwetaagira nga muwala waffe alwadde.

OMUSAJJA gwe mbadde njagala okuzaama anneefuulidde mu kiseera mwe nsinga okumwetaagira nga muwala waffe alwadde.

Ekimukyusizza si kirala wabula ng’ambo z’abantu abatatwagaliza. 

Nze  Nalubega Birabwa,  mbeera Namuwongo. Omwami wange ono mmaze naye emyaka etaano era tulina n’ezzadde.

Ebbanga lino lyonna abadde andaga omukwano era nga tuli basanyufu mu bufumbo bwaffe wadde ng’abadde talina bulungi ssente.       

Ebbanga eriyise emabega omusajja yatandika mpola okukyusa mu mbeera ze wabula nga simanyi buzibu bwonna we buva okutuusa lwe nakizuula nti waliwo abeng’ambo abamubuulira ebigambo nga bagenderera okutwawukanya. Yatandiikiriza mpola obutanfaako nga buli lw’akomawo annangira nga bwe nnina abasajja abalala.

Eky’abasajja saasooka kukifaako kuba nnali mmanyi sikikola wabula omwana wange bwe yalwala n’annyima ssente ezimutwala mu ddwaaliro we namanyira nti omusajja ali siriyaasi.    

Omwana yatandika okukaaba olubuto era bwe namutwala mu kalwaliro ne bandagira nga bwe nsaanye okumutwala mu ddwaaliro eddene kuba obulwadde bwamaanyi era ne mmutwala e Mulago. Mu ddwaaliro bansaba 40,000/- bamuggyeko akafi ku bulago akeberebwe kyokka nga sizirina kyokka bwe nazisaba kitaawe yagaana okuzimpa.   

Nalaba yeeremye kwe kumuviira ne nzira ewaffe era gye nzigyanjabira omwana. wabula ssente bwe buzibu. omwana wange addukana, takyayagala kulya  era asula akaaba olw’obulumi kyokka sirina ssente za kumujjanjaba. Wano we nsabira ku buyambi kuba omwana wange agenda kunfaako.

Alina amagezi g’awa Nalubega wandiika ekigambo EBITUUSE, ozzeeko obubaka bwo oweereze ku 8338.

Omusajja agaanyi okujjanjaba omwana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....