TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nkubakyeyo ammazeeko ennyonta ya laavu

Nkubakyeyo ammazeeko ennyonta ya laavu

Added 14th June 2012

NZE Aisha Nakawooya, mbeera Kasubi. Ku nkomerero y'omwaka oguwedde, waliwo ggaayi eyantuukirira n’ansaba omukwano. Ono akuba kyeyo Bungereza era mu butuufu akyusizza obulamu bwange.

NZE Aisha Nakawooya, mbeera Kasubi. Ku nkomerero y'omwaka oguwedde, waliwo ggaayi eyantuukirira n’ansaba omukwano. Ono akuba kyeyo Bungereza era mu butuufu akyusizza obulamu bwange. 

We twasisinkanira nnalina omuvubuka gwe njagala wabula nga tantwala ng’ekikulu. Yandabanga lwayagadde ate ngam n’okumuwuliza lutalo.

Embeera eno yatuuka n’entama naye nga ndaba sirina kya kukola. Kale muvabulaaya bwe yansuula ekigambo nasooka ne ntya nga ndowooza naye mufere wa laavu wabula ekiseera bwe kyayitawo ne ndaba nga ye musajja ansaanidde era mu kiseera kino y’ammazzeeko ennyonta ya laavu yonna gye mbadde nayo. 

Wadde nga kati ali ku mirimu, tayinza kwerabira kunkubira ssimu buli lunaku ne twogera ku bintu ebizimba omukwano gwaffe era kuno kwagatta okumpeereza obufaananyi obunkuuma nga ndiko akaseko buli kiseera. Takoma awo wabula ampeereza obuyambi okusobola okwebeezaawo n’okumponya ebikemo ebiyinza okuva mu butaba na ssente. 

Kino king’umya era ndabira ddala nga munnnange afaayo wadde nga tali kumpi nange. Alina ekintu kye yankoledde na buli kati sinnakikkiriza.

Gye buvuddeko yangulidde ennyumba e Lubowa nga kuliko n’amayumba g’abapangisa era kati we njogerera ndi landiroodi ekintu kye mbadde sirootangako. 

Mu kiseera kino tutandise enteekateeka z’okweyanjula mu bakadde baffe ku njuyi zombi basobole okututegeera era ku nkomerero y’omwaka guno lwe nsuubira okumwanjulira abange. 

Nsiiba nsaba Katonda ayimirirewo mu mukwano gwaffe tuleme kufuna buzibu bwonna tusobole okukola amaka ageegom besa.

Nkubakyeyo ammazeeko ennyonta ya laavu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...