
Nnali simanyi nti ne mu Bazungu mulimu abafere ba laavu. Omuzungu yanfunyisa olubuto kyokka yagera nnaatera okuzaala n’addayo ewaabwe n’empuliziganya kwe nnali mmufunira n’agiggyako.
Nze Aisha Abelo, mbeera Namuwongo. Omuzungu yali ava mu Yitale. Bwe twasisinkana yansaba omukwano. Saawalira kuba mu butuufu yali alabika bulungi ate nga n’empisa ze yasooka n’andaga nti muntu mulungi nnyo.
Yalinga tanjuza mu bintu ebisinga obungi era nga n’omukwano agumpa mu bungi. Twapangisa enju era eno buli budde gye twabeeranga nga tulya bulamu n’okweraga omukwano. Olw’omukwano gwe twalina nafuna mangu olubuto olwo n’andaga nti ddala amaliridde okubeera nange ng’omwami wange era nga buli kye twogerako kya kukola bufumbo.
Katonda yannyamba ne nzaala bulungi era olwamanya nti nzadde n’antegeeza ng’ekiseera ky’okudda ewaabwe bwe kyali kituuse. Yansuubiza okudda annone n’omwana waffe olwo n’andekera ennamba y’essimu kwe tunaawuliziganyanga.
Omusajja olwagenda ne ntandika okulaba buli kika kya nnaku kuba nnali sikola, nnina omwana ate nga n’ennyumba nze nnina okugisasula. Nafubanga okumukubira essimu atuweereze obuyambi wabula ng’ambuzaabuza era obulamu bwange obusinga nabumalanga mu kuyiiya.
Kati wayise emyaka ena bukya musajja ono agenda wabula sifunanga ku buyambi bwonna kuva wuwe era nze ntoba n’ebyokulabirira omwana wange. Essimu kwe nnali mmufunira yavaako dda era kati simanyi bimukwatako.
Omuzungu yanzaalamu omwana n’anzirukako