
OLUMBE olwanzitira baze eyali anjagala okuzaama nkyalwevuma. Bukya andekawo ndabye ennaku sijirojja. Nze Specioza Nazziwa, mbeera Namuwongo.
Baze yali muvuzi wa takisi era nga musajja mutetenkanya. Yatuukirizanga obuvunaanyizibwa bwe ng’anfaako nnyo ssaako n’okulabirira abaana.
Mba ndi mu bakadde abanzaala ne nfuna essimu ya mulamu wange ng’antegeeza nti baze omulwadde ennyo era ali mu ddwaaliro. Nasitukiramu ne ng’enda mu ddwaaliro gye yamala olunaku lumu n’afa nga n’obulwadde obumusse sibutegedde.
Yandekera abaana babiri era nze mbalabirira. Sirina mulimu gwa nkalakkalira oguvaamu ssente. Omwana omukulu alina emyaka 10 naye yaakadda mu kibiina emyaka ebiri kuba asoma atuula olw’obutaba na ssente. Obulamu bwo mpulira bunkaluubiridde naye simanyi kyakubukolera.
Omwami wange yandekera ennaku