TOP

Nneesunga kuzaalira David bbebi

Added 6th September 2012

NZE Dorah Namukasa, mbeera Namayumba. Emyezi esatu emabega waliwo ggaayi eyantuukirira n’ansaba omukwano.

Namukasa Dora.

NZE Dorah Namukasa, mbeera Namayumba. Emyezi esatu emabega waliwo ggaayi eyantuukirira n’ansaba omukwano.

Ono teyali mulala wabula ye David. Okumuddamu ku kye yali ayagala tekyantwalira budde bungi kuba
twali tumanyiganye okuviiraddala mu buto kale ng’ebimukwatako ebisinga mbimanyi bulungi.

Olwali okukkiriza munnange n’ansaba tutandike okubeera ffembi era kati ndi mu maka nfumba. Ekiseera kye twakamala ffembi ebintu tebinnatutambulira bubi era buli omu afa ku munne.

Tutandise okulowooza ku biseera byaffe eby’omu maaso era we njogerera nga tuli mu ssanyu kuba ndi lubuto lwa mwezi gumu.

Buli omu bbebi waffe amwesunze bubwe era simanyi kadde we nnaamuzaalira ssanyu lye tunaaba nalyo. Oluvannyuma lw’okuzaala tujja kulowooza ku mu bakadde okweyanjula mu butongole.

Abantu b’oku kyalo abamu baali banjogerera nti siyinza kusobola bufumbo era abamu baamutuukirira ne bamutegeeza bwe sisaanidde kubeera naye.

Wabula bino byonnateyabifaako kuba amanyi eky’omuwendo kyalina. Wano we nsinziira okumusuubiza okumuwa omukwano gwonna n’okubeera omukyala omulungi agenda okumuzaalira abaana abanayaza ekika.

 

Nneesunga kuzaalira David bbebi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...