TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Enjawukana mu myaka yeetaaga bugumiikiriza

Enjawukana mu myaka yeetaaga bugumiikiriza

Added 18th September 2012

ENNAKU zino abawala bangi baganza abasajja abakulu era nga n’abamu bali mu myaka gya bakitaabwe oba bajjajjabwe

ENNAKU zino abawala bangi baganza abasajja abakulu era nga n’abamu bali mu myaka gya bakitaabwe oba bajjajjabwe.
Embeera eno abantu bangi bagyebuuza, oba nga ddala omusajja mukulu n’omuwala omuto baagalana batya?

Okusookera ddala ngenda kwogera ku mukwano gwa mirundi ebiiri. Waliyo omukwano ogw’omusajja omukulu n’omuwala omuto nga ddala baagalana. Omukwano guno okusinga gubeera mu Bazungu. Mu mukwano guno, omuwala alina okuweza emyaka 18 kuba abeera yeesalirawo.

Omukwano guno tegulina buzibu kuba omusajja ayagala omuwala omuto agezaako okutegeera embeera ze era n’akola ebyo omuwala by’ayagala.

Mu mbeera eno era n’omuwala ayiga munne bulungi era n’amusanyusa mu ngeri eyo ey’emyaka emikulu.

Mu mbeera eno buli omu alina okwejjukiza buli lunaku nti munnange muntu mukulu oba akyali muto.Olina okugumira ebizibu by’abato oba eby’abakulu. Omuwala omuto ayinza okwagala okugenda mu mazina naye ate ng’omusajja ayagala kudda waka kunywa ku kacaayi.

Mu mbeera eno muyinza okuddayo ne munywa caayi naye manya nti ekiro musobola okugenda mu mazina.

Mu kwegatta omuwala alina okumanya nti omusajja ono amaanyi alina matono, era n’obwagazi butono.

Kino kitegeeza nti mu kwegatta kyangu omuwala okusigala nga tamaze oba nga tafunye ssanyu.

Nolwekyo omusajja alina okugezaako okunoonya omuwala obulungi afune obwagazi era n’okugezaako asobole okumalamu akagoba.

Abaagalana Jimmy Mbuule n’owuwe Sarah ab’e Buloba mu biseera byabwe eby’eddembe.

Mpozzi singa omuwala omunto yeegatta n’omusajja omukulu wabula ng’amulabira mu kifaananyi kya kitaawe oba jajjaawe, ng’obuzibu buzze.

Omuwala oba ayagala kunyumirwa omukwano n’omusajja omukulu alina okukyusa ebirowoozo n’amutwala nti mukwano gwe oba muganzi we era amwagala.

Endowooza eno bw’ekyuka, omukwano gugenda bulungi era omuwala ono taswala kutambula na musajja mukulu era amulaga abantu bulungi nga talina nsonyi.

Abakyala kye bagamba;

Ekirala omuwala omuto bw’ofuna omusajja omukulu manya nti ogenda kumulabirira nnyo okusinga ng’ofunye omuvubuka ow’emyaka gyo.

Abasajja bwe bakula banafuwa nnyo, ebintu ebisinga tebasobola kubikola ate beesiga nnyo abakyala okubayamba n’okubalabirira. Buno obuvunaanyizibwa omuwala omuto alina okubumanya. Ate singa abeera n’endwadde z’emyaka nga puleesa oba sukaali manya nti buvunaayizibwa bwo okumujjanjaba.

Naye embeera esinga mu Uganda be bawala abato abaagala abasajja abakulu olw’okufuna oba okwebeezaawo. Era n’abalenzi ennaku zino gye bali abaagala abakazi abakulu okusobola okubeerawo.

Mu mukwano bwe guti, omuwala talina ky’asobola kusalawo. Kino kitegeeza nti omusajja ono akozesa ssente oba ebyo by’amuwa okukwana oba okwegatta n’omuwala ono.

Ebiseera ebisinga omuwala tasobola kusalawo kya kukola. Kale mu kwegatta omusajja akozesa omuwala ate ng’omuwala mu kumukozesa mw’afunira by’ayagala.

Embeera eno si nnungi n’akamu wadde abantu bangi gye balimu era n’abazadde bangi batwala abaana mu mbeera eno.

Abawala oba abalenzi abaagala embeera eno okusinga banoonya kufuna era mu mbeera eno kizibu okutegeera munno kubanga toli mu mukwano era singa ky’oyagala kiggwaawo kitegeeza n’enkolagana eggwaawo.

Embeera eno erimu obuzibu nga siriimu, endwadde z’obukaba, okufuna embuto n’okuziggyamu.
Ekirala obeera teweeyagala anti ng’omanyi nti bakukozesa. Kya magezi okubeera n’omuntu gw’oyagala obulungi kubanga musobola okukubaganya ebirowoozo.
 

Enjawukana mu myaka yeetaaga bugumiikiriza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...