
NAZZIKUNO abaana abawala baabasibanga embira nga bakyali bawere ‘okukola ekiwato’.
Wadde ng’abazadde abamu mu mbira baateekangamu eddagala ‘erigema’ omwana endwadde ez’enjawulo naye ng’ekigendererwa ekikulu kyabanga kya kukendula kiwato.
Ekiwato kikola kinene mu kunyumisa omuzannyo gw’abakulu, naddala ng’omukazi yatendekebwa bulungi.
Waliwo ebika by’ebiwato era ng’abamu bawanuuza nti enkula y’ekiwato esobola okulaga enneeyisa ya nnyini kyo mu mukwano.
EKY’OLUKENDE:
Kino kitera okubeera n’omuntu alina akabina akatonotono, wamu n’olubuto nga lutonotono, ate nga kyeyawula ku mugongo n’akabina. Abalina kino baba n’ebirungo byonna eby’omukwano era kinyumisa nnyo omuzannyo
AKALUMBA:
Bano baba batono bonna nga yenkanankana era nti baba bawanvu e buziba. Ekiwato ky’ekika kino kiba kikyuka bulungi mu buli sitayiro era talina sitayiro emukaluubiriza.
EKYA MWAMBA:
Kino kiba kigazi nnyo ate nga kyeyawula ku mugongo n’akabina. Abalina kino batera okuweza ag’emugga ate nga n’enkula y’ekiwato ewa nnyini kyo embiibya naddala nga n’omukubi w’eng’oma by’akola abitegeera bulungi.
KABULABUKWATIRO:
Kino tekyawula mugongo na kabina, era ebiseera ebisinga abakyala ab’ekikula kino batera okuba n’agemugga. Ekizibu kyakyo nti omusajja alina okuba omutetenkanya ennyo okufuna w’akwata.
Wabula Dr. Martin Kakembo ow’e Mulago agamba nti ebisinga ebyogerwa ku nkula y’ekiwato n’ennyumisa y’omukwano biwanuuzibwa buwanuuzibwa.
Ekirala okusiba omwana embira tekirina ngeri gye kiyambamu kukola kiwato, kuba amagumba g’omwana gava buto nga galina engeri gye geesengekamu.
Y’ensonga lwaki bw’osanga omwana atalina kiwato abeera alina omulala gwe yafaanana mu kika, ekiraga nti kyabutonde.
Enkula y’ekiwato eraga omukazi anyumisa emikolo