TOP

Ebinaanyumisa laavu mu 2013

Added 1st January 2013

OMWAKA omupya gutuwa emikisa mu bintu eby’enjawulo omuli n’omukwano.

OMWAKA omupya gutuwa emikisa mu bintu eby’enjawulo omuli n’omukwano. Eno y’ensonga lwaki bangi bajaganya ng’omwaka omukadde guggwaako, nga baaniriza omupya.

1. Bw’oba ng’omwaka gwa 2012 tegukutambulidde bulungi mu bintu bya laavu, kozesa omukisa gw’omwaka omuggya ogwa 2013 okutuukiriza ebirooto byo. Wabula ky’olina okumanya nti okutuuka ku kino waliwo ensonga z’olina okussaako ennyo essira.

Beera mwetegefu okunoonya omukwano. Kino kitegeeza nti kikulu okubeera mu bifo ebinaakwanguyiza okuzuula wa omukwano we guli.

Bw’oba ng’obadde n’ebikutawaanya mu mwaka oguwedde, bisibe ku nkondo otandike obulamu obupya ne munno era obeere mwetegefu okumulaga omukwano. Ate ku ludda lw’abo abanoonya, 2013 gutandike ng’oli mwetegefu okunoonya wonna okulaba ng’ofuna omubeezi.

2.Manya bye weetaaga mu mukwano gwammwe era ofube okulaba ng’obifuna. Ate ku muntu anoonya omubeezi, beera mulambulukufu ku muntu gwe weetaaga.

Oyagala waakukuwasa, oba waakulya bulamu? Bw’oba onoonya kulya bulamu era funa oyo ow’okulya obulamu. Bw’oba oyagala waakuwasa oba kufumbirwa, beera mwanjulukufu okuva ku ntandikwa.

3.Manya nti tewali muntu atuukiridde. Kino kitegeeza nti munno tomusuubira kubeera nga malayika. Bw’oba nga mu mwaka oguwedde omulabyemu ebituli, osobola okwogera naye ne mubizibikira mu mwaka guno, wabula tolemerako nnyo.

Ate kw’oyo anoonya omubeezi omupya, ebisaanyizo biddirizeeko. Gy’okomya okuba n’ebingi bye weetaaga mu mubeezi okaluubirizibwa okufuna omutuufu.

4.Eri abafumbo, salawo omwaka guno omukwano gwammwe mugutwaleko mu lujjudde. Okugeza bwe muba nga okucakala mubadde mukusuuliriddemu mwaka oguwedde, 2013 mukukolere ‘time table’.

Okugeza muyinza okugamba nti mu mwezi mucakalamu emirundi esatu oba ena. Kino kijja kwongera laavu yammwe obuka.

Ate bw’oba onoonya, teweetuulako, kijja kukubeerera kizibu okufuna omuntu nga weesibira waka buli lunaku. Gendako mu bifo ebisanyukirwamu, mu masinzizo, ku mbaga mu supamaketi n’ebifo ebirala ebikung’aanya abantu, tomanya munno Katonda gwe yakutegekera yandiba nga gy’onoomusisinkana. Ebifo ebisanyukirwamu bitera okulangibwa ku leediyo, ttivvi ne mu mpapula z’amawulire.

5.Mukozese emikwano naddala emyesimbu mu bufumbo bwammwe. Okugeza bwe muba musoowaganye ensonga bwe muziyingizaamu emikwano oluusi kiyambako okusinga buli omu ‘okufa ekisiiri’.

Ate ne ku ludda lw’abanoonya oyinza okweyambisa emikwano nabo ne bakuyambako okufuna omwagalwa naddala akusaanira kubababa bakumanyi bulungi. Jjukira nti abantu bangi abafunye abaagalwa nga bayita mu mikwano gyabwe, n’olwekyo tobanyooma.

6.Kozesa kompyuta, obutabo n’empapulaz’amawulire okumanya ebiri ku mulembe era ebinaakuyamba okutambuza amaka gammwe.

Wadde obufumbo tebutambuliraku bitabo, naye oluusi omukyala oba omusajja bw’abaako ky’asomye kimuyamba okwewala okugwa mu nsobi.

Ekirala obutabo bubaamu obukodyo bungi obw’omukwano n’okulabirira amaka era kizibu okukasoma n’obulwamu ky’oyiga.

7.Fuba okubeera omuntu ‘abeereka naye’. Kino kitegeeza nti weewale okukaluubiriza munno mu ngeri yonna. Weewale okunyiiganyiiga, n’okukola ebinyiiza munno, okuyomba, okulwana n’emize gyonna gy’omanyi nti munno gimunyiiza. Buli lw’obeera omukalubo mu ngeri yonna kyongera okukaluubiriza abalala n’ekinaavaamu mukwano butakunyumira.

8.Ekisinga obukulu, tandika omwaka ng’oli mumalirivu obutaggwaamu maanyi n’essuubi mu nsonga z’omukwano. Bwe weesanga ng’otuuse mu mwezi gwa March nga tonnafuna tobivaako, fuba ojja kumalako.

 

Ebinyumisa omukwano ku Lusooka omwaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...