TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ensonga ezisibye abawala ku mpya za bakadde baabwe

Ensonga ezisibye abawala ku mpya za bakadde baabwe

Added 8th January 2013

WALIWO ekiseera omuwala w’atuuka n’aba ng’abantu musuubiramu okufuna munne batandike obufumbo.

Fred Rujumba ne Mariam Ssali nga bali mu biseera byabwe eby’eddembe. Batuuze b’e Lungujja.Bagamba nti obufumbo bwabwe baakabumalamu emyaka mukaaga era babufuniddemu ebirungi bingi omuli n’ezzadde.

WALIWO ekiseera omuwala w’atuuka n’aba ng’abantu bamusuubiramu okufuna munne batandike obufumbo. Edda omuwala bwe yatandiikirizanga okuvubuka, nga bazadde be bamuteekateeka n’okumutunuza mu kkubo ly’obufumbo.

Engeri gye yakuzibwangamu n’enteekateeka eno okuviira ddala mu myaka emito era nga si kyangu kubulwa musajja amuggya ku luggya.

Naye embeera eriwo leero ndala. Abawala bangi badibidde ku luggya n’abandi ne batuuka n’okweyombekera. Kw’ogatta abazaalira ku mpya za bakadde baabwe ne batuuka n’okulabirira abaana bano nga tebafunye buyambi bwa musajja.

Embeera eno evudde ku ki?
Omukugu mu kubudaabuda abantu abalina ebizibu eby’enjawulo akolera mu SOS Medical Centre e Kakiri, Gorretti Mbabu agamba nti embeera z’abasajja ze zisinze okuvaako abawala okwenyiwa obufumbo.

Agamba nti obulimba bw’abasajja n’engeri gye badibagamu omukwano biyititidde. “Omuwala ayinza okufuna munnen’amusuubiza ensi n’eggulu.

Kyokka wayita mbale n’amuleka mu masang’anzira. Omuwala ow’ekika kino bw’afuna abasajja ab’ekika kino abalala nga basatu, yeetamwa eby’omukwano n’asalawo okubinnyuka bubimbi”, bw’agamba.

Agattako nti abawala abayisiddwa mu ngeri eno bangi era basigazza ebiwundu by’omukwano ebibatujja ng’ejjute ku mutima.

Abamu bazadde ne ku baana ne basalawo okubeerabirira”, bwatyo Mbambu bw’agamba. Mbambu ayongerako nti abasajja okutya obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya amaka nayo emu ku nsonga evuddeko embeera eno.

Abasajja abamu omukwano baagala gwa kiggweerawo si gwa kutwala buvunaanyizibwa bwa kutandika maka. Annyonnyola nti ab’ekika kino batuuka ne ku ssa ly’okwegaana abaana be
babazaddemu.

Ekirala omuwala bw’agenda akula, aba n’ebisaanyizo by’omusajja gwe yandyagadde okufumbirwa ng’ekiseera kituuse.

Mu bino mulimu empisa, obuyigirize, amaka mw’ava, eggwanga, eddiini n’ebirala. Singa omuwala alemwa okufuna omusajja ow’ekika kino, yeesanga ng’eby’okufumbirwa abitadde.

“Enneeyisa y’abakazi nayo etuusizza bangi obutafumbirwa. Abasajja batunuulira nnyo ekisaanyizo ky’empisa mu bawala be baagala okuwasa. Naye embeera z’abawala abamu tezisikiriza basajja kubatwala mu ddya.

Empisa okuviira ddala ku nnyambala, enjogera, mikwano gye ebifo mwe babeera n’ebirala bigoba nnyo abasajja. Abamu beevaamu okubaganza kyokka ne batya okubatwala awaka.

Kuno kw’ogatta abawala abapepeya n’abasajja abatali bamu enkya n’eggulo. Omukazi ow’ekika kino abasajja bamutya okumutwalako obuvunaanyizibwa bw’okumutwala mu maka.

Obukwakkulizo abazadde bwe bateeka ku baana baabwe abawala nabwo bukoze kinene mu kutiisa abasajja okuwasa.Abamu basaba ebintu bingi okubakkiriza okuwasa abaana baabwe nga n’abandi balemera nnyo ku nsonga y’eddiini, eggwanga n’obuyigirize.

Ensonga y’okusoma ennyo nayo eri ku mwanjo ku biremesezza abakazi okufumbirwa. Omuwala ekiseera we yandibadde alowooleza ku bufumbo aba mu kusoma ate nga bw’amaliriza abasajja baba bamutya olw’obuyigirize bwe.

Abawala abamu batya okwesalako amasanyu singa bayingirira obufumbo. Omuwala bw’alowooza ku mbeera emukomako okwetaaya n’okumusala ku mikwano gye wamu n’okuyingirira obuvunaanyizibwa bw’amaka obulala, asalawo kugira ng’alindako ku nsonga eno.

Amagezi ku nsonga eno:
Mbambu agamba nti empisa okudda mu bantu, obuteejeeguula, okwewala ebiduula n’okwesigama ku Katonda bye bimu ku bijja okuyamba abantu okudda ku mulamwa gw’obufumbo.

 

Ensonga ezisibye abawala ku mpya za bakadde baabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katebalirwe

'Gavumenti yabadde ntuufu o...

AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kayise ba agenti b'abeesimbyewo abaakwatiddwa oba okutaataaganyizibwa ku lunaku lw'okulonda,...

Ssebunnya

Ssebunnya alambuludde ebyas...

OMUWABUZI wa Pulezidenti Museveni ku nsonga za Buganda, Robert Ssebunnya avuddeyo n'ayogera ku mbeera y'ebyokulonda...

Nabirah.

Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago...

Bano baabadde ku boodabooda nga batwala omulwadde mu ddwaaliro.

Basonze ku kyasuddeMuseveni...

ABATUUZE mu disitulikiti y'e Mayuge n'abakulembeze boogedde lwaki Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine' owa NUP...

Cranes eyasamba Congo Brazaville e Kumasi .

Cranes lwe yasimattuka okuf...

EMIZANNYO gizze gigwamu ebikangabwa eby'amaanyi ne mufiiramu abazannyi. Ebimu ku bino bwe bubenje bw'ennyonyi okugeza;...