TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Jose katono ankutule omutima ku Valentayini

Jose katono ankutule omutima ku Valentayini

Added 11th February 2013

Ekyantuukako ku Valentayini y'omwaka oguwedde nsaba Katonda akinsonyiwe ku luno.

Mariam Nabuufu

NZE Mariam Nabuufu. Mbeera Nansana. Ekyantuukako ku Valentayini y'omwaka oguwedde nsaba Katonda akinsonyiwe ku luno.

Jose ye ggaayi gwe mmaze naye kati omwaka mulamba nga tuli mu laavu enka. Eno ye Valentayini eyookubiri nga ndi mu laavu ne mwanamulenzi ono.

Ey'omwaka oguwedde yansanga nnaakamufuna era n'ansuubiza okunzisa laavu. Twateesa okusisinkana ku Lido Beach e Ntebe akawungeezi k'olunaku olwo tubeeko ebintu bye tutuukiriza ng'abaagalana abaali baakatandika ensonga z'omukwano.

Nze essaawa endagaanye nnagikwata mumwa ne ntuula mu kafo akamu okulindirira omuntu wange. Saakiriimu nzekka wabula n'abaagalana abalala baatandika okutuuka n'okunyumirwa olunaku luno nga bwe batera okukola.

Amaaso gandinga mu kkubo ebbanga lyonna nga nnindirira ggaayi wange ono eyali agenda okukola olunaku lwange n'okumpa ku ssanyu eriyitiridde.

Wabula obudde bwatuuka okuziba nga Jose simulabako. Ekimu ku bintu ebiyinza okucankalanya omuntu yenna alina munne ku lunaku nga luno y'embeera ng'eno. Nnatuuka n'okwoza ku mmunye naye nga nakyo ndaba tekinnyamba. Bwentyo bwe nnadiba n'ekimuli kyange mu ngalo.

Wabula enkeera munnange yajja n'anneetondera. Yantegeeza ng'emirimu bwe gyamulemesa okubeera nange ku lunaku olwo.

Yampa ekirabo ky'ekifaananyi kyange ekyali kiteekeddwa obulungi mu ‘fuleemu’ ekyandaga nti ddala yali anjagala.

Mu kiseera kino yansuubiza okunnyongera omukwano n'okwongera okumpisa ng'omwagalwa we nnamba emu.

Wabula ku y'omulundi guno njagala kumuba ku lusegere mu ngeri ya kabbaani ku ndongo olunaku lwonna.

Saagala kumuwa ggaapu lwa nsonga nti abawala abamwegwanyiza nkimanyi bangi. Naye yennyini ansuubizza omukwano gw’atandagangako.

Agamba nti agenda kukozesa Valentayini eno okunneetondera mu ngeri gye yampisaamu luli n'okwongera okuteekateeka ebiseera byaffe eby'omu maaso.

Twakkiriziganyizza nti Valentayini y'omwaka ogujja ejja kutusanga nga tulinawo bbebi anaayongera okuggumiza omukwano gwaffe.

Jose katono ankutule omutima ku Valentayini

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...