TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Valentayini eno tutegese kusula awutu ne Tonny

Valentayini eno tutegese kusula awutu ne Tonny

Added 13th February 2013

VALENTAYINI eno kabiite wange mmwetegekedde.


Nankinga

VALENTAYINI lunaku lwa njawulo nnyo mu bulamu bwaffe bobw’omukwano kuba tulweyambisa okutereeza ebyo ebirabika nga biggya omukwano gwaffe ku mulamwa.

Nze Juliana Nankinga, mbeera Gganda mu Wakiso. Tonny ye Valentayini wange gwe nsazeewo okuwa olunaku lwa Valentayini y’omulundi guno lwonna.

Omukwano gwaffe gwatandika mu 2009 era okuva olwo tutambula bulungi ng’abaagalana.

Tonny okumufuna yali kasitoma wange okumala ebbanga okutuusa lwe yandaba nga nsaanira amaka ge. Mu kiseera kino tulina omwana omu era tusaba Katonda atubeere mu ggandaAlo lya Valentayini eno tusobole okubaako we tutuuka ku nsonga z’okuzza ku bbebi waffe.

Valentayini eziyise newankubadde tubadde tuzikuza, tubadde tulina we tukoma lwa nsonga buli omu abadde akyayiga munne.

Naye ey’omulundi guno buli omu ng’amaze okuyiga munne mu bujjuvu tugenda kuliisa buti ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri.

Olunaku luno twasazeewo okulufuula olw’omuwendo ennyo mu bulamu bwaffe lwa nsonga nti ebiseera byalwo
ebisinga tugenda kubimala wamu nga twesanyusa wamu n’okwejjukanya gye tuvudde.

Tugenda kukuba ttooci mu biseera byaffe eby’omu maaso.

Twasazeewo okusulako awutu okusobola okuwa olunaku luno omuzinzi. Nga tuli eyo, tujja kwogera ku nsonga nnyingi naddala ezeekuusa ku maka gaffe.

Kye nteeseteese okumusaba, kwe kuteeka mu nkola eky’okweyanjula mu bakadde bange e Mukono mu kiseera ekitali ky’ewala.

Mu ngeri endala nja kumusaba okwongera okukuuma obwesigwa naddala mu kiseera kino ekijjudde ebikemo ebingi.

Nsuubira nti we tunaaviirayo ng’obufumbo bwaffe buzziddwa buggya.

Weereza obubaka bwa Valentayini eri omwagalwawo ng’owandiika mu ssimu yo ekigambo ‘ABAAGALWA’ ozzeeko obubaka bwo oweereze ku 8338.’ Bujja kufulumizibwa mu lupapula lwa Bukedde ku lwa Valentayini.

Valentayini eno tutegese kusula awutu ne Tonny

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...

Mutuulakungo alaze bwe yate...

OMUSAMIZE Mutuulakungo eyatendeka Augustine Yiga Abizzaayo okutetenkanya ekibuga alaze engeri gye yamubangulamu...

Balumbye Mayinja okuyingiza...

Abantu abenjawulo balumbye Ronald Mayinja okuyimba ng’awaana Museveni kyokka n’ayingizaamu Bobi Wine mu ngeri gye...

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...