TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Olwaleero tulumyusizza twerage amapenzi

Olwaleero tulumyusizza twerage amapenzi

Added 14th February 2013

VALENTAYINI enyuma munno oli naye ku lusegere n'omulaga amapenzi

VALENTAYINI enyuma munno oli naye ku lusegere, naye kasita akuyiwa oyinza okwevuma olunaku lwe wayingirira ensonga za laavu.

Nze Claire Nakakande. Mbeera Mulago. James ye ggaayi wange yekka era bazadde bange gwe bamanyi obulungi.

Omukwano gwaffe mu kiseera kino guli mu myaka ena era gukyagenda bukwakku.

Valentayini y’omwaka oguwedde katono erumire James bwe yafuna ebimukwata n’akeerewa okutuuka mu kifo kye twali tulagaanye.Yali waakutuuka mu kifo kino ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo naye n’atuuka ku 2:00 ez’ekiro.

Mu bbanga eryo lyokka nakogga ne ntandika n’okuwewuka. Bye nnalowooza mu kiseera ekyo, byali bingi era we yatuukira yansanga mu nnyanja ya birowoozo.   

Ebyo ng’obitadde ku bbali, ffe ng’ababiri Valentayini tugyenyumirizaamu nnyo lwa nsonga nti lwe lunaku lwe tutuulako ng’abaagalana okumala ebbanga eddene ne twogera ku biseera by’omukwano gwaffe eby’omu maaso.

Olunaku lwonna tuluwaayo ku nsonga eno nga tuzimba omukwano gwaffe. Eno y’ensonga lwaki gusobodde okuwangaala okumala ebbanga eryo lyonna ate nga gukyagenda mu maaso. 

Mu bye tukola ku lunaku luno, mulimu okwegabira n’ebirabo wamu n’okupepeya ng’abaagalana mu ng’eri etali ya bulijjo.

James akimanyi bulungi nti njagala nnyo akateeteeyi akamyufu era k’atera okuntonera. Nze ntera kumutonera ddole kubanga naye kye kirabo ky’asinga okwagala.

Nga twakalabana, yangulira ekiteeteeyi ekitantuuka ng’ekirabo ky’olunaku. Wabula ate kino kyayongera okunyweza laavu yaffe era enkeera yantwala mu dduuka ne nneerondera ekintuuka. Bwe twava eyo ne twongera okupepeya.   

Naye Valentayini y’omulundi guno ya njawulo nnyo okuva ku ndala mu ngeri nti ku luno olunaku lwonna tuluwaddeyo. James ansuubizza ekirabo eky’enjawulo ate nga nange mmusuubizza ekirabo kye mmanyi ky’asingira ddala okwagala.

Eno gye tujja n’okumalira ekiro kyonna nga twogera ku biseera byaffe eby’omu maaso omuli okweyanjula mu bakadde wamu n’okugattibwa mu bufumbo obutukuvu.

Olwaleero tulumyusizza twerage amapenzi

More From The Author

Ow

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...