TOP

Kituufu baze talina nkwaso?

Added 22nd February 2013

NNINA muninkini wange talina mazzi ga nkwaso ate ng’ali kitalo butalo kiva ku ki ekyo?

NNINA muninkini wange talina mazzi ga nkwaso ate ng’ali kitalo butalo kiva ku ki ekyo? Kubanga sifuuna lubuto. Kassim, Bulenga.

BAAMUKEBERA nga talina nkwaso mu mazzi ge oba gwe olowooza nti talina kubanga tofuna lubuto?

Oba gwe alina obuzibu? Okusookera ddala kiba kizibu okumanya oba munno alina amazzi g’enkwaso oba talina kubanga weetaaga ekyuma ekikebera amazzi g’ekyama nga kino kibeera mu malwaliro.

Ekirala omwami n’omukyala nga tebazaala kiba kirungi okugenda mu ddwaaliro mwembi kuba obuzibu busobola okubeera ku musajja oba omukazi oba mwembi.

Ekigaana abasajja obutabeera na nkwaso bingi. Ayinza okuba n’enkwaso nga ntono mu bungi, mu sayizi oba nga tezaakula tugambe nga tekuli mikira oba nga tekuli mitwe.

Ekirala endwadde nga ssukaali zibuza enkwaso. Ate waliyo abasajja ng’entula zaabwe zikolera mu mazzi gokka nga tezikolwa maggi oba enkwaso.

Kale okufuna ekituufu mwekebeze mwembi.

Kituufu baze talina nkwaso?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...