TOP

Baze awasizza n'asenguka ku kyalo

Added 9th March 2013

TAATA w’abaana kkooti gwe yalagira okuweerera abaana n’okubalabirira agaanye okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. Nze Zulaika Nansubuga, 35, nga mbeera Namuwongo. Twali tumaze ne baze emyaka 15 nga twagalana mwe twazaalira n’abaana bataano.

TAATA w’abaana kkooti gwe yalagira okuweerera abaana n’okubalabirira agaanye okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. 

Nze Zulaika Nansubuga, 35, nga mbeera Namuwongo. Twali tumaze ne baze emyaka 15 nga twagalana mwe twazaalira n’abaana bataano.

Ekyennaku ababiri ne baffa ne tusigaza basatu. Abaana abasatu bano be twasigaza, omusajja yagaana okuddamu okubalabirira.

Yakeera lumu n’agenda okukola emirimu gye nga bulijjo teyadda waka n’okutuusa kati. Nnagezaako okumuyita akomewo tukuze abaana n’agaana era nnalaba banzitooweredde kwe kusalawo okumutwala mu kkooti y’e Makindye.

Mu kkooti omulamuzi yamulagira aweerere abaana n’okubalabirira olwo nze mbambaze kyokka agaanyi okubituukiriza.

Yalina okutuwa emitwalo esatu buli wiiki kyokka yakikola emirundi ebiri gyokka nag’aana okuddamu okumpa ssente.

Ngezaako okulabirira abaana bano naye bannemeredde kuba nnina n’okusasula ennyumba.

Teri kinkwasa nnaku okuwulira nti baze yagaana okulabirira abaana n’asenguka ne ku kyalo n’agenda e

Namugongo gye yawasiza omukazi omulala kyokka nga kati bazadde n’omwana nga n’abange bamulemye. Kati simanyi kyakukola. Nsaba yenna asobola okunnyamba ampe ku magezi kuba nze binnemeredde.

Ayagala okuwa Nansubuga amagezi wandiika ekigambo ‘MAGEZI ‘ ku ssimu yo ozzeeko obubaka bwo oweereze ku 8338

Baze awasizza n’asenguka ku kyalo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...