
NNYINZA ntya okumanya nti omukyala amazeemu akagoba nga sibuuzizza?
KINO kizibu kuba abakyala tetuli nga basajja nti bwe tumala tufulumya amazzi mangi. Abakyala abamu bafulumya amazzi naye abalala tebafulumya. Abasinga amazzi bagafuna bafunye obwagazi era kino kibaawo ng’atandika okwegatta. Mpozzi waliyo abakyala abamalamu akagoba ng’okozesezza ak’e Mbarara.
Naye era bano si bangi. Abasajja abasinga balowooza nti omukyala singa ayimba nnyo kitegeeza nti amaze nedda si bwe kiri. Abakazi abamu bayimba okulaga bannabwe nti kye bakola gyekiro ate ng’oluusi baba tebanyumirwa.
Ng’omusajja osobola okumanya nti munno afunye obwagazi olw’amazzi okweyongera nga muli mu kaboozi, naye kizibu okumanya oba amazeemu akagoba. Wabula bw’oba omubuuzizza ayinza okukubuulira ekituufu, lwakuba abakazi batono abatuuka ku ntikko y’omukwano.
Mmanya ntya omukazi atuuse ku ntikko?