TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abalina omusaayi gwa 'O' ne A' baka mu mukwano

Abalina omusaayi gwa 'O' ne A' baka mu mukwano

Added 26th March 2013

ABASAJJA bakwana abakyala nga balina ebintu bingi ebibasikiriza oba ebibeegombesezza ku bakyala bano


 

 

 

ABASAJJA bakwana abakyala nga balina ebintu bingi ebibasikiriza oba ebibeegombesezza ku bakyala bano omuli akabina, amaaso, amannyo, entumbwe, ebigere, entunula, entambula, ffiga, n’ebirala bingi.

Wabula bino byonna biba kasendabaguzi kuba enkomerero omusajja ky’ayagala ye mukazi anyumisa akaboozi.

Dr. D ‘Adamo eyakola okunoonyereza n’azuula ebika by’omusaayi ebiri mu bantu eb’enjawulo n’abikwataganya n’enneeyisa yaabwe mu nsonga z’omukwano.

Agamba nti ensi erimu ebika by’omusaayi bina (4) okuli A B O ne AB. Ekika ky’omusaayi ekya O kye kikyasinzizza abantu abangi nga bali 38.5% ne kiddirirwa A (34.3%) , B(8.6%) be AB (4.3%), mpozzi n’ebika ebirala ebijja bimeruka .

Ayongerako nti abantu abalina omusaayi gwa O+ ne A+ balina ebikolwa ebifaanagana nga bano baba boogerayogera nnyo, bavuma, bayombi, balwana mala, balalu ekiyitiridda ate nga tebasiba busungu.

Dr. Agnes Nanteza owa kuva mu Namung’oona Medical Centre agamba nti abantu abalina omusaayi gwa ‘O’ baba n’effujjo, baba basanyufu ate era baagalwa nnyo, era tebaawukana nnyo A, kyokka ate aba B baba basirise, baba n’omukwano, bayiiya, tebalaga busungu era buli kintu bakikwata mpola.

Omukugu mu nsonga z’omukwano Ibrahim Ssekabira okuva e Namung’oona agamba nti: Abasajja baagala nnyo abakyala abalalu kuba eddalu lye terikoma wabweru wabula eby’ekiralu asobolera ddala okubireeta mu kisenge ate ne kyongera okunyumisa akaboozi.

Omuntu omusanyufu oba omulalu anyumisa nnyo omuzannyo kuba akaboozi bwe katuuka ku muntu omusirise ennyo ate tekanyuma.

Agattako nti omuntu yenna asirika ennyo aba abowa ekireetera munne okuwulira nga yeetamwa, kale effujjo mu kaboozi linyuma nnyo era buli muntu agezeeko okulikozesa ajja kulaba enjawulo ebeerawo wakati w’omuntu ow’efujjo n’omusiriise.

Abalina omusaayi gwa ‘O’ ne A’ baka mu mukwano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...