TOP

Abbey muka mu laavu!

Added 1st April 2013

ALLAH yasiima n’annondNze Sonia Ssanyu. Mbeera Nansana. Mwanawattu Katonda alina enteekateeka za buli omu ezeewuunyisa!era omuntu ampadde emirembe mu nsi.ALLAH  yasiima n’annondera  omuntu ampadde emirembe mu nsi.

Nze Sonia Ssanyu. Mbeera Nansana. Mwanawattu Katonda alina enteekateeka za buli omu ezeewuunyisa!

Nnali muwala eyanyumirwanga ennyo okutambulako ku lubalama lw’ennyanja naddala ku wiikendi ne ndya kaasi ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri. Ekyantwalangayo kwe kulya ku bulamu n’okuwummuza ku birowoozo.

Olunaku olw’ebyafaayo mu bulamu bwange lwaliwo ku Ssande emu mu 2010. Nnali ntambuddeko ne mikwano gyange ku bbiici emu.Saamanya nti waaliwo ggaayi eyaliwo eyandaba nga nneegiriisa ne mmukuba ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri. Ono teyali mulala wabula yali mwanamulenzi Abbey.

Oluvannyuuma yantumira mwannyina eyantuusaako obubaka bw’omukwano obuva gy’ali.

Nnali muwala eyeematira kyokka ku mulundi guno nnakkiriza mangu okumusisinkana nga bwe yansaba.

Oluvannyuma lw’ebbanga twaddamu ne tusisinkana mu kifo ekiragaanye. Ku luno twayogera ku nsonga nnyingi naddala ez’omukwano.

Twayawukana ansabye okufuuka omwagalwa we, kyokka nnamusaba okumpa obudde nnyongere okukirowoozaako, nga ssaagala kumala gapakuka. Oluvannyuma lw’emyezi esatu, nneesitula ne ng’enda ewuwe ne tutandika obufumbo.

Ensonga zonna zitambudde bulungi kubanga mu kiseera kino tulina n’omwana. Ankoledde saaluni ate ng’andabirira mu ngeri zonna ezisoboka.

Nga mpita ku muko gwaffe guno omuganzi njagala okwebaza Abbey olw’ebirungi byankoledde.  

Nnoonyezza ekirabo kye nnyinza okumuwa ne kimbula. Naye buli bbanga nsaba Allah ansobozese mmuzaalireyo ku balongo nsobole okumuweesa ekitiibwa kya Ssaalongo naye yennyini ky’ayagala ennyo. Musaba n’okutuukiriza eky’okweyanjula mu bakadde bange e Namusera.

Abbey muka mu laavu!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...