TOP

Omugejjo gutta obwagazi

Added 16th April 2013

ABANTU abamu ensonga y’okugejja ebamalako emirembe era ebeeraliikiriza olw’endowooza abasinga gye balina nti obunene bulina engeri gye bulemesaamu omuntu okunyumisa ekigwo ky’abakulu.

 

 

 

 

ABANTU abamu ensonga y’okugejja ebamalako emirembe era ebeeraliikiriza olw’endowooza abasinga gye balina nti obunene bulina engeri gye bulemesaamu omuntu okunyumisa ekigwo ky’abakulu.

Dr. James Semakalu owa Devine Medical Centre e Bweyogerere agamba nti obutafaananako ku bantu babulijjo kye balowooza nti okwegatta ke kaboozi.

Agamba nti akaboozi kazingiramu byonna ebikulembera okwegatta wamu n’ebisembayo nga mumaze okwegatta.

Dr. Gerald Byaruhanga owa Tobiah Medical Centre agamba nti kituufu sayizi erina ky’eyamba mukunyumisa omukwano.

Omubiri gw’amasavu n’ebinyamanyama tegusikiriza era y’ensonga lwaki bangi bettanira ab’emibiri emitono oba egy’ekigero.

Semakalu agamba nti abasajja basikirizibwa singa omukyala amweyambulira nga tayiikayiika, era ne ku bakyala bwe kiri.

Bw’atunuulira munne ng’olubuto luyiikayiika kizibu okufuna apetayiti etwala emirimu.

Ate omubiri oguli awamu guyamba ne nnyinigwo okwongera okwekkiririzaamu ate nga kino kikulu nnyo mu kunyumya akaboozi.

Dr. Byaruhanga agamba nti ng’oggyeeko eky’endabika, abantu abanene balina emikisa mingi okuziba emisuwa egitambuza omusaayi ekirwaza puleesa, sukaali, okufuna obuzibu mu mawuggwe, okulwala ekibumba, kkookolo wa nnabaana mu bakazi ne kansa w’obusajja n’endwadde endala.

Ebizibu bino agamba nti birina engeri gye bikosaamu obutereevu obusobozi bw’omuntu okwegatta.
Ssemakalu akkaatiriza nti ensonga yonna ekendeeza amaanyi mu mubiri ereetera obwagazi bw’okwegatta okukendeera.


BY’OLINA OKUKOLA:
Okukendeeza ku mugejjo kujja kukuyamba okwekkiririzaamu ng’olaba omubiri gwo gukusanyusa n’ekinaavaamu kwe kusitula obwagazi mu mubiri.

Omugejjo osobola okugukendeeza ng’okola dduyiro okusala amasavu.

Ekirala, dduyiro ayamba emisuwa okuta ekiyamba omusaayi okutambula obulungi mu buli kanyomero k’omubiri omuli n’ebitundu by’ekyama.

Okulya obulungi naddala emmere ezimba omubiri ate nga tereeta mugejjo nga ebibala n’enva endiirwa eyamba omubiri okuba omulamu obulungi.

Kendeeza okulya ebisiike kuba binafuya omubiri ssaako okuleeta endwadde ezongera okugunafuya.

Omugejjo gutta obwagazi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...