TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Olufunye olubuto omusajja n'andekawo

Olufunye olubuto omusajja n'andekawo

Added 22nd April 2013

NZE Immaculate Fuachan. Mbeera Namuwongo. Emabegako twatuuka n’okwawukana ne taata w’abaana ng’entabwe eva kulemerwa kuzaala.NZE Immaculate Fuachan.  Mbeera Namuwongo.  Emabegako twatuuka n’okwawukana ne taata w’abaana ng’entabwe eva kulemerwa kuzaala.  

Nange ng’omukyala  ng’ezezzaako okukola kyonna ekisoboka okufuna olubuto nsobole okusanyusa mwami wange.

Omwami wange ono tubadde naye emyaka ebiri era nga buli kiseera anneegayirira mmuzaalireyo ku mwana, anti ng’alowooza nti oba oli awo nnina kye nkozesa okwegema okuzaala. 

Kino kyantuusako ne ku mulubaale era kyaddaaki katonda awulidde essaala zange n’amumpa. We twogerera ndi lubuto lwa myezi ena. 

Lwe nnasooka okugamba omwami wange ku nsonga eno yandaga nti agisanyukidde nnyo era natandika okundabirira ebyensusso. 

Wabula olwafunye akawala akato n’anneerabira ng’era kati ampita mukadde. Buli lwe ngezaako okumusemberera ng’ankuba era ne ssente takyampa.  

Teri kisinga kunnuma nga musajja kubiibiita ‘musege’ gwe omupya, n’atuuka n’okungoba mu nnyumba mwe yansanga nga  kati annyaniriza na miggo ate ayagala na kugoba ku kyalo. 

Nnali nnafunayo mukwano gwange eyali ansuza kyokka n’amukuba era n’amugaana okuddayo okukikola.

Kati nsula mu mpewo mu kkanisa y’Abalokole, ensiri gye zinnumira kyokka nga ndi lubuto lwa mwanawe naye andaga nti tayagala kumanya!

 

Olufunye olubuto omusajja n’andekawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...