TOP
  • Home
  • Ssenga
  • 'Lomansi' ayamba omukazi okutuuka ku ntikko y'omukwano

'Lomansi' ayamba omukazi okutuuka ku ntikko y'omukwano

Added 23rd April 2013

Bangi abakulanye laavu egenda ekendeera, munno eyali akuyita ‘Swiiti’ nga bw’alikuyita oyinza okwekanga, n’olowooza nti osanga alina omulala gw’abadde ayita.

 

 

 

 

OMUYIMBI Samalie Matovu yabiraba bwe yayimba nti omukwano gunyuma bwe guba gutandika, wabula bwe gugenda gukula gubowa.

Kino kyeyolekera mu maka g’abafumbo naddala abamaze emyaka 10 n’okudda waggulu.

Bangi abakulanye laavu egenda ekendeera, munno eyali akuyita ‘Swiiti’ nga bw’alikuyita oyinza okwekanga, n’olowooza nti osanga alina omulala gw’abadde ayita.

Mu mbeera eno, abaamalanga ebbanga nga beenoonya mu ngeri y’okukola ‘lomansi’, biba tebikyabamalira biseera, abamu ne batuuka ne ku ssa ly’okweteekawo ng’omugogo munne n’agattako n’okumukuutira ‘okumubikka ng’amaze by’akola’


EBITTA ‘LOMANSI’

Abakugu mu bya laavu bagamba nti ensonga ya ‘lomansi’ tetandikira mu buliri oba mu kisenge.
Bagamba nti omuntu ali ‘lomantiki’ atandikira ku kutonera munne bulabo, okumuweereza mesegi z’omukwano n’okumulaga nti amufaako.

Bagattako nti kizibu abaagalana abaayawukanye ku makya ne bamala olunaku nga tewali awulizza ku munne okubasuubira okukola ‘lomansi’ nga batuuse mu kisenge.

Mw. Vincent Kasule abuulirira abafumbo ng’abeera Najjanankumbi agamba nti abakyala bwe balwa mu bufumbo batandika okufuna emize gy’obuteeguya. “Ate bw’azaala omukwano gwa bba gwonna aguzza ku bbebi.

Bino bikyusa obwongo bw’omusajja naye n’akendeeza mpola omukwano gwe n’ekivaamu nga n’ebya ‘lomansi’abivaako”.

Ensonga y’okulaga omusajja ti okooye nnyo nga naye atandika okukyusa engeri gy’akolamu emirimu.

Eyali awaayo obudde n’akunoonya nga takyatawaana kuba naawe omujuliza nga bw’okooye ennyo.
Ate n’abasajja oluusi bakoowa nnyo ku mirimu.

Agenda okutuuka mu buliri ng’ayagala kutuukira ku ky’alowooza so ssi kusooka ‘kwemoola’.

Abakazi obutaba na bukodyo bupya bunyumisa mukwano nakyo kimalamu bannaabwe amaanyi n’ebya ‘lomansi’ ne babivaako. Abakazi obutatega bumasu nayo nsonga nkulu ddala.

Obucaafu nsonga nkulu ereetedde abasajja okwesamba okunoonya bannaabwe. Omusajja eyabanga akomba ebbakuli n’akuba n’ennoga kizibu okukikola nga munne si muyonjo.

Abakazi okutandika okwenda nakyo kimazeemu nnyo abasajja amaanyi agakuba emmese aba alowooza nti ne bw’anaamufiirako era ajja kubaliga.

Abasajja okupapa ennyo nakyo kisse ekinyusi ky’okwenoomnya kuba abamu bw’acamuka, ebirowoozo byonna abimalira munda mu nnabunnya era abamu eby’okunoonya munne aba tabiraba nga bikulu.

‘LOMANSI’  YANDIBADDE ATYA?
Eddy Walugembe ow’e Mpereerwe agamba nti ‘lomansi’ mu kisenge yandimaze wakati w’eddakiika 30 ne 45 , olwo buli omu n’atuuka ku ssa ly’okulinda munne batandike okulya.

Abaagalana abatuuse mu kiseera kino kizibu omukazi obutatuuka ku ntikko ya mukwano.

“ Wadde tewali mateeka omuntu g’alina okugoberera mu kukola ‘lomansi’ naye kirungi buli omu atuuke mu buli kitundu kya munne ng’amunywegera ng’akozesa emimwa, n’olulimi n’engalo nga kw’agasse okumusonseka obugambo obuwoomu”, bw’agamba.

OMUGASO GWA LOMANSI’

Ayamba abaagalana okwongera okwetegeera. Ebbanga lye mumala nga buli omu anoonya munne kimuyamba okutegeera ebitundu ebimusumulula era awo w’asinga okussa essira.
Ku ludda lw’abasajja ayamba okwongera ku maanyi, kuba buli lw’alwawo okuyingira e buziba n’amaanyi gagenda geeyongera era eyandimaze eddakiika ebbiri yeesanga waakiri awezezza ekkumi.
Ku bakazi singa omusajja ensonga eno agikwata bulungi kizibu okubulwa ag’emugga agamala ate ku bamu naddala abamalira kungulu tekyetaagisa musajja kulafuubana ng’atuuka e buziba okusanyusa munne.
Walugembe agattako nti ng’oggyeeko endowooza y’abaddugavu abakitwala nti okuyingira ebuziba kye kisinga obukulu, ‘lomansi’ nsonga nkulu ddala kubanga omusajja atwalibwa nti amanyi omukwano abakazi abasinga bamupimira ku ngeri gy’anywegeramu, n’okunoonya munne, so ssi ku luutu z’atwala nga bali mu kisaawe oba sayizi y’obusajja bwe.
Ekikulu kiri nti buli lwe munyweza ensonga y’okwenoonya, kizibu emboozi z’omu kitanda obutagenda bulungi, kubanga kye kisumuluzo ky’essanyu ly’abaagalana.

‘Lomansi’ ayamba omukazi okutuuka ku ntikko y’omukwano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...