TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Anzaddemu abaana basatu n'anzirukako

Anzaddemu abaana basatu n'anzirukako

Added 16th May 2013

Nze Annet Nantale. Nnina emyaka 22. Mbeera Kazo okumpi n’ekisaawe wabula ewa mwannyinaze James Sserwadda oluvannyuma lw’omusajja eyanfunyisa olubuto okunzirukako.

 

 



Nze Annet Nantale. Nnina emyaka 22. Mbeera Kazo okumpi n’ekisaawe wabula ewa mwannyinaze James Sserwadda oluvannyuma lw’omusajja eyanfunyisa olubuto okunzirukako.

Nnali mbeera Mityana kyokka eky’ennaku bazadde bange ne banfaako era nnasalawo okujja mu kibuga nnoonye ‘ekikumi’. Eky’omukisa nnali nnaakatuuka ne nfuna omuntu eyali ayagala okumulerera abaana era ne tubeera naye.

Ewa mukama wange nnali nnaakamalayo omwaka nga gumu ne wabaawo omusajja eyandaga nti anjagala era ne tugenda naye mu maaso n’omukwano.

Omusajja ono ye yalya n’embuzi yange.
Nnavanga ewa mukama wange ne ng’enda okusisikana omusajja oyo kumpi buli lunaku kyokka waayita emyezi esatu gyokka ne ntegeera nti ndi lubuto. Omusajja nakimutegeeza n’andaga nti takirinaako buzibu bwonna.

Olubuto bwe lwaweza emyezi etaano ne lufuuka lunene nnyo ekyawaliriza abasawo okundagira okugenda mu ‘Scan’ (sikaani) gye nnategeerera nti nnina abaana basatu. Era amangu ddala nnakubira omusajja wange ne mmutegeeza ku nsonga eno.

Wano we yakoma okwogera nange era ne we yali apangisa n’asengukawo.

Ekiseera kyatuuka mukama wange gye nnali nkola nandagira okugenda ewa nnannyini lubuto kuba nti yali takyasobola kubeera nange, bwentyo nayiiya ekyokukola ne kimbula kubanga buli lwe nakubanga ku ssimu y’omusajja nga teriiko okutuusa lwe nnasalawo ne ng’enda ewa mwannyinaze avuga boda y’eggaali e Kazo n’anzikiriza okutuusa lwe nnazaala.

Kye nneebaza mukama, abaana nnabazaala bulungi bonna basatu ate we bali balamu bulungi. Wabula kati obuzibu bwe nnina ke kayumba ke nsulamu ne mwannyinaze akafunda ate n’ekyokulya oluusi kibula.

Era mu kiseera kino abaana bange tebakyayonka olw’okubulwa amabeere nga kiva ku butafuna byakulya bimala.

Sirina muntu wa musajja yenna gwe manyi. Era simanyi we ntandikira kunoonya kitaabwe.
Nsaba omuntu yenna asobola okungumiikiriza n’abaana bange nga nsobola okukola nga Hawusigaalo ankubire ku ssimu yange 0776338296 kubanga nnoonya kyakubaliisa.

Anzaddemu abaana basatu n’anzirukako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...