
Ow’emyaka 16 anfunyisa ow’emyaka 18 olubuto?
Nga lwaki tamufunyisa?
Omulenzi yenna singa atandika okwerooterera osobola okufunyisa omuwala oba omukazi yenna olubuto.
Oyinza n’okwebaka n’omukazi ow’emyaka 40 n’omufunyisa olubuto. Kale mwana wange weegendereze.
Obulumi buva ku ki?
Lwaki buli lwe mbeera n’omwami wange mu mukwano mpulira obulumi munda abanga anfumise akambe.
Okwegatta tekulina kubeeramu bulumi.
Mwana wange olina okubeera n’obuzibu mu nnabaana oba mu bukyala.
Wagendako ew’omusawo? Kyamagezi okugenda mangu ew’o musawo omutendeke.
Togeza n’ogenda mu bafere, kubanga banoonya ssente.
N’ekirala sifunangako ku ssanyu kati mwaka mulamba.
Omusajja muyaaye, mwenzi ate anywa nnyo omwenge. Oluusi agezaako n’okunzita muleke?
Mwana wange emirembe kikulu nnyo mu bulamu bw’omuntu yenna. Oba tolina mirembe ate ng’omusajja alina empisa bwe zityo lwaki tomuviira?
Ogambye nti oluusi ayagala kukutta, obulamu tobwagala?
Yogerako ne bazadde bo n’abomusajja bakuwe ku magezi kubanga olabika omusajja omwagala nnyo.
Ow’emyaka 16 anfunyisa ow’emyaka 18 olubuto?