Nze Maggie Nakyanzi. Mbeera Kawempe.
Omuwala omu eyali mukwano gwange nfanfe yantuukirira n'antegeeza nga bw’alina mukwano gwe omulenzi ayagala okwogeramu nange.
Olunaku olwo twesitula ne tumukyalira mu muzigo gwe yali apangisa era ne tutuuka ku nsonga nnyingi.
Mu bimpimpi yantegeeza nga bwe nnali mmulabikira obulungi era bwatyo n'ansaba okuba mukwano gwe ow'enjawulo.
Mwanamulenzi ono yalina obukodyo obwampangula amangu ennyo bwe tutyo ne tutandika okupepeya ng'abaagalana.
Ebyava mu mbeera eno lwali lubuto.
Engeri gye nnali omuto, bazadde bange baabuuka enswa kubanga banninamu nnyo essuubi.
Munnange yakkiriza okumpasa era n'antwala mu nnyumba gye yali apangisa ne ntandika obulamu bw'obufumbo. Ebintu mu kusooka byatambula bulungi ne ntuuka n'okuzaala bbebi.
Wabula ekyannemesezza obufumbo oluvannyuma lw'ebbanga ttono ye munnage okusalawo okung'attika ng'ebikooyi.
Waliwo omuwala ebadde ku mizigo gino eyamulya obwongo bwatyo n'asalawo okumuganza.
Nnasooka ne mbiwulira mu ng'ambo okutuusa lwe nnabakwata lubona nga basinda omukwano.
Nnatondebwa sirina maanyi galwana era kye nnasazeewo kwe kusibamu ebyange ne nviira omusajja.
Engugu nnagikubye wa mukulu wange nga bwe nnoonya eky'okukola. Ekirungi mmanyi okweyiiyiza obulimu era nnatandise dda okukola obulimu obuvaamu ensimbi ezinnyimirizzaawo.
Naye nkimanyi bulungi nti obulamu bw'omu si bwangu nnadala ng'oli bw’omu kuba bubaamu ebikemo bingi.
Eno y'ensonga lwaki ntandise okulowooza ku ky'okufuna omusajja anampa emirembe era anaasobola okumpa ekitiibwa n'okumponya embeera ya buli musajja asanze okubaako ky'akusaba.
Bw'oba gy'oli nfunira ku ssimu 0755154940.
Eby’okungattika bintamizza obufumbo