TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Gwe nnasooka okwagala yantamya omukwano

Gwe nnasooka okwagala yantamya omukwano

Added 3rd June 2013

NZE Gloria Nabwami, 19. Mbeera Nakaseeke. Ebizibu bye mpiseemu okuva bwe nnafuna olubuto okutuuka okuluzaala siribyerabira.

NZE Gloria Nabwami, 19. Mbeera Nakaseeke.  

Ebizibu bye mpiseemu okuva bwe nnafuna olubuto okutuuka okuluzaala siribyerabira.           

Nnasisinkana Kanyankole nga ndi muwala muto wabula ebigambo by’omukwano bye yang’amba bye byampaliriza okumuganza nga ndowooza nti yali abitegeeza nga simanyi nti mulimba.           

Kanyankole yammalira ebiseera byange bingi!  

Twamala akaseera nga twagalana ne ggaayi ono era teyalwa n’antika olubuto.

Bwe nnamutegeza embeera gye nnalimu mu kaseera ako yansuulawo ne mbonaabona n’olubuto okutuusa bwe nnaluzaala nga sifunye wadde olwataano okuva gyali.         

Kale olw’ebizibu ebingi bye nnayitamu bye siryerabira, nakogga ne nfaanana olubwa olubbi.

Ntandise kati okunyirira wabula ng’omuganda bwagamba nti eyali alumiddwa ku musota ne bw’alaba omuguwa yeekanga, nange bwentyo nnalayira obutaddamu kuganza musajja yenna.

Kati nnasalawo kukolerera mwana wange eby’abasajja nabyesonyiwa. 

Nsaba abawala abali mu myaka emito beewale abasajja kubanga abasinga batya obuvunaanyizibwa era baagala bakazi bakola.

Ekiseera bwe kirituuka nga bakuze nga beekolera balifuna abatuufu.

Gwe nnasooka okwagala yantamya omukwano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ababaka abalonde nga basimbye ennyiriri okuyingira bbaasi.

Ababaka ba palamenti aba NR...

Ababaka ba NRM abapya aba palamenti ey'omulundi 11 abasoba mu 200 basimbudde akawungeezi ka leero okwolekera olusirika...

Omulangira  Jjuuko ng'attotola abatemu bwe baalumbyemu.

Abeebijambiya balumbye ekya...

ABATEMU abatannategeerekeka balumbye ekyalo Nabaziza mu Kyengera Town Council mu Wakiso ne batemaatema abatuuze...

Dr. Diana Atwine omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule.

Abakulembeze mukubirize aba...

Dr. Diana Atwine omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu akubirizza abakulembeze mu Buganda okubeera...

Ssegirinya nga bamutwala mu kkooti ya Buganda Road.

Ssegirinya alaajanidde mu k...

OMUBAKA wa Kawempe North omulonde Muhammad Ssegirinya eyakazibwako erya Mr.Update bwe yabadde mu kkomera e Kitalya...

Poliisi y'e Wandegeya gye beemulugunyaako.

Beemulugunya ku poliisi y'o...

ABANTU abaloopa emisango ku poliisi y'oku Kaleerwe beemulugunya nti emisango gyabwe tegikolebwako bulungi wadde...