
Nze Margaret Nansimbe. Mbeera Katosi-Mukono.
Buli lukya nneebaza Katonda olw’okunnondera omusajja ategeera embeera zange.
Asuman yali kasitoma wange mu dduuka we nnakoleranga emyaka kati 12 egiyise. Ebbanga lye twamala nga tukolagana lyatugatta nnyo mu ngeri ey’enjawulo.
Lwali lumu lwe siryerabira, Asuman lwe yantegeeza nga bwe yali ansiimye okugenda ewuwe mufumbire ettooke. Ssaasooka kukkiriza bigambo bye engeri gye nnali mmaze ebbanga eddene nga mulaba ate nga talina kye yali ang’ambye ku byekuusa ku mukwano.
Eno y’ensonga lwaki okumuddamu kyantwalira ebbanga lya myaka ebiri nga nkyamwetegereza n’okwongera okukakasa nti ddala yali siriyaasi.
Oluvannyuma lw’ebbanga lino yalaga nti ddala akakasa by’ayogera. Eno y’ensonga lwaki nnakkiriza okumufumbirwa era okuva olwo laavu gy’ampa entuusizza mu ssanyu eritagambika. Okutwalira awamu sikyalina "situleesi".Musajja muntumulamu, mugumiikiriza, tabuukira bigambo ate afaayo ku bulamu bwange n’abaana baffe.
Mu kiseera kino katonda atuwadde ezzadde lya baana bataano ate nga tutuuse ne ku bintu ebirala bingi omuli okwezimba n’okwekulaakulanya mu ngeri ey’enjawulo. Mu kiseera kino buli omu akyali mu ddiini ye kyokka ndi mwetegefu okutoola "shahadu" singa munnange akkiriza okutuukiriza obumu ku bukwakkulizo bwe mmuteereddewo.
Olunaku lw’alisituka n’agenda mu maaso ga bakadde bange e Kagulu, Kojja n’abeeyanjulira mu butongole n’okubawa ebyabwe, nange lwe ndisalawo okusiramuka.
Singa kino kituukirira,ndi mwetegefu okukkiriza erinnya ly’Ekisiraamu lyonna ly’aliba annondedde wamu n’okutandika okugoberera amateeka g’eddiini y’Obusiraamu omuli okusiiiba naddala mu kisiibo kino ekitandise.
Asuman kola bye nkusaba nsiramuke