TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu abakazi bye bakola abasajja ne batabisiima

Ebintu abakazi bye bakola abasajja ne batabisiima

Added 16th July 2013

Omukwano gulinga bbebi kuba okukula obulungi olina okugulera, okugugabirira, okugulabirira n’okuguwembejja. Wano abakazi we basingira ku basajja kuba bakola ebintu bingi okusikiriza abaami baabwe wabula ng’ebiseera ebimu abaami tebabifaako era tebabisiima, sso ng’oluusi bayita mu bulumi.

 

 

 

 

 

Omukwano gulinga bbebi kuba okukula obulungi olina okugulera, okugugabirira, okugulabirira n’okuguwembejja.

Wano abakazi we basingira ku basajja kuba bakola ebintu bingi okusikiriza abaami baabwe wabula ng’ebiseera ebimu abaami tebabifaako era tebabisiima, sso ng’oluusi bayita mu bulumi.

EBINTU ABAKAZI BYE BAKOLA  OKUSIKIRIZA ABAAMI BAABWE:

Okusiba n’okukola enviiri: Buli mukyala ng’ayagala okulabika obulungi asooka kukola nviiri ne zinyirira.

Wabula okutuuka ku kino oluusi ebizigo bibookya ate bw’aba azisibye bazimyumyuula n’avaayo ng’omutwe gumutujja. Kyokka oluusi ne bw’aba anyumye munne ayinza obutamunyegako.

Okuwumula omubiri: Abakyala bakola ebintu bingi mu linnya ly’okukuuma omukwano omuli n’okwewummula ebituli ku bitundu eby’enjawulo nga amatu, ennyingo, olulimi, ekkundi, mu mbugo n’ebitundu ebirala. Bino babikola nga baagala waakiri munne amusiime, naye bangi tebabifaako.

Okwambala kalifuuwa ow’ebbeeyi:
Kalifuuwa kye kimu ku bisinga okuseerebwa, naye omukyala ayinza okutereka buli kasente okulaba ng’agula oyo awunya obulungi, asobol okusikiriza munne. Ekibi nti abasajja abamu bw’alaba munne ne kalifuuwa omulungi alowooza nti waliyo omusajja omulala eyamumugulidde.

Ennyambala: Bangi bambala engoye ezibamiima ne zibabuza obwekyusizo, bambala engatto za kakondo empanvu ezibaleega entumbwe n’ebirala ng’ekigendererwa kya kusikiriza munne, kyokka byonna nga tabiraba era tabifaako.

Okufumba: Tewali mukazi atamanyi muliro bwe gwokya naddala nga yali ofumbyeko ne bw’eba wiiki emu yokka. Naye teebereza omukazi n’ayiiya, n’afumba n’amulinda okukomawo, amujjulire kyokka olusimbamu wuuma n’agireka awo! Kino kinyiiza abakazi bangi.

Okukyalira ensiko:

Abakyala abaafuna obubonero buno bamanyi obulumi bwe bayitamu, naye ng’ekigendererwa kya kusanyusa munne. Wabula abasajja bangi abatafaayo wadde okwebaza munne olw’okumutawaanira asobole okufuna essanyu, oba waakiri okukebera amanye ekipimo kya munne.

Richard Kimbowa omukugu mu kuteekateeka n’okubangula abafumbo e Wakaliga agamba nti abasajja abamu bakaluubirizibwa okwatula nga basiimye, naye nga mu butuufu aba asiimidde ddala.

Agamba nti waliwo ebintu abakazi bye batalina kusuulirira, nti kubanga bigenda buziba ku mitima gy’abasajja ate tebisanguka mangu mu birowoozo ekibaleetera okunyumirwa omukwano n’okuguwangaaza. Bino mulimu:

Okulabika obulungi:
Olina okulabika obulungi, wabula tekitegeeza kugula bintu bya bbeeyi nnene, wabula ebirungi.

Okwanguyira munno:
Olina okuba ng’oyanguyira munno naddala mu njogera oba ng’oli mwangu okutuukirira. Kino kimuleetera okuyaayaana mu mutima okwogera naawe buli kiseera ne bw’aba ku mulimu akukubira oba okwanguwa okudda awaka anyumyeemu naawe.

Okumwenya:
Tewali mukazi alabika bulungi nga tamanyi kumwenya. Buli lw’omwenya olabika ng’oli mwangu okutuukirira ate olaga nti oli mwetegefu okusanyukira awamu naye.
Ebiseera ebisinga engeri gy’omwenya ng’oli ne munno emusigala ku mutima era asiiba yejjukanya ng’akuba obufaananyi nga bwomwenya, ekimuleetera okukunywererako.

Obuwoowo:
Bw’ofuna akawoowo akalungi, olina okukeesigaliza kuba bye bimu ku bintu ebisikiriza omusajja ne bibasigala ku mutima n’ebirowoozo.
Buli lwakwata ku lugoye lwo nga toliiwo ng’alowooza ku ggwe.
Ate ekirala bw’oba ne munno ng’owunya bulungi aba ayagala kukusemberera, obeere mu kifuba kye oba ye okukwesigamako buli kiseera okusobola okuwunyiriza akawoowo ko.
Mu mbeera eno, kakasa nti owunya bulungi, olabika bulungi ate teweerabira kamwenyumwenyu kuba y’ettaala emumulisa.

Okumanya:
Abasajja abamu tebaagala bakazi babasinga kumanya wabula olina okuba omujagujagu mu bintu munno byasinga okwagala.
Okugeza bw’aba mudigize olina okunoonya obufo obulungi we musobola okucakalirako, awali emmere ewooma ssaako awali abantu abagwa mu kiti kye.
Awo buli lw’anaaba ng’afuluma agenda okulya obulamu tajja kukuleka mabega.

Ebintu abakazi bye bakola abasajja ne batabisiima

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba w'Ekkanisa ya Revi...

Omusumba w'Ekkanisa ya Revival  Christian Church Kawaala, Andrew Jengo yeegasse ku bannaddiini okukungubagira Ssaabasumba...

Omugenzi Sserwadda

Taata wa kazannyirizi Maria...

Abakungubazi beeyiye mu bungi mu maka ga Ssentebe waabwe Benard Sserwadda Mpokota ng'ono ye taata wa Comedian MC...

Omugenzi Kaggwa

Kitalo! Munnamawulire Kavum...

Kitalo! Munnamawulire Kavuma Kaggwa afudde Omutaka w'e Kyaggwe Joseph Mukuba Kavuma Kaggwa afudde olwaleero...

Omuserikale atwala Kakooza okulinnya Kabangali.

Poliisi ekutte bana ababba ...

POLIISI ya CPS mu Kampala ekutte abavubuka abeenyigira mu kusala ensawo n’okubba abantu n’ebaggalira oluvannyuma...

Kamulegeya (ku kkono) n'omugenzi Kayongo.

ENSONGA 10 EZIGOBYE NDIRANG...

Supreme Mufuti, Sheikh  Ndirangwa yalekulidde nga kigambibwa nti e Kibuli waliyo obutakkaanya mu bukulu. Tukuleetedde...