TOP

Omukwano omwetegekere tegubowa

Added 30th July 2013

Mu nsi y’omukwano buli muntu anyumirwa okuba mu mukwano n’omuntu amutegeera.

 

 

 

 


Mu nsi y’omukwano buli muntu anyumirwa okuba mu mukwano n’omuntu amutegeera. Kuba abakazi abasinga kasita bamala okufuna obufumbo tebaddamu kutunuulira nnyo basajja nga n’abasajja batandika obutakyafaayo ku bakazi olw’okuba baba babamanyidde.

Naye okuteekateeka munno kintu kikulu ekigumya obufumbo kuba buli omu kizibu okwenyiwa munne.

Mu pulogulaamu y’Akasaale k’Omukwano ebeerawo ku Ssande ku Bukedde ttivvi bassenga Annet Nandujja, Halima Namakula ne Kkojja Abbey Kabanda balaze engeri abaagalana gye balina okutegekamu bannaabwe basobole okunyumirwa omukwano.

Nandujja agamba nti abasajja balina okuyiga okukwata obulungi bannaabwe.

“Olw’okuba bagamba nti omusajja alina kusajjalaata oluva eri amala gagwira munne nga tamaze kumuddaabiriza. Kati abeera anaggya wa obwagazi?”, bwe yeebuuzizza.

Ate n’abakyala n’abakubiriza okuba abayonjo naddala mu kisenge kuba kiwa abasajja apetayiti.
Kabanda yayongeddeko nti abasajja balina okufuba okunoonya obufo obusumulula bannaabwe nga mu nviiri, mu nnyindo, mu bigere n’ebitundu ebirala.

Yawumbyewumbye agamba nti mufune ku bukodyo obw’enjawulo obuteeka omuntu mu muudu.

Okugeza bwe muba munaagenda mu mukwano kw’olwo omusajja komawo ng’obudde bukyali n’akalabo k’oba oleetedde munno naye amanye ekigenda mu maaso.

Mu nsi y’omukwano buli muntu anyumirwa okuba mu mukwano n’omuntu amutegeera.

Kuba abakazi abasinga kasita bamala okufuna obufumbo tebaddamu kutunuulira nnyo basajja nga n’abasajja batandika obutakyafaayo ku bakazi olw’okuba baba babamanyidde.

Naye okuteekateeka munno kintu kikulu ekigumya obufumbo kuba buli omu kizibu okwenyiwa munne.

Mu pulogulaamu y’Akasaale k’Omukwano ebeerawo ku Ssande ku Bukedde ttivvi bassenga Annet Nandujja, Halima Namakula ne Kkojja Abbey Kabanda balaze engeri abaagalana gye balina okutegekamu bannaabwe basobole okunyumirwa omukwano.

Nandujja agamba nti abasajja balina okuyiga okukwata obulungi bannaabwe.

“Olw’okuba bagamba nti omusajja alina kusajjalaata oluva eri amala gagwira munne nga tamaze kumuddaabiriza. Kati abeera anaggya wa obwagazi?”, bwe yeebuuzizza.

Ate n’abakyala n’abakubiriza okuba abayonjo naddala mu kisenge kuba kiwa abasajja apetayiti.
Kabanda yayongeddeko nti abasajja balina okufuba okunoonya obufo obusumulula bannaabwe nga mu nviiri, mu nnyindo, mu bigere n’ebitundu ebirala.

Yawumbyewumbye agamba nti mufune ku bukodyo obw’enjawulo obuteeka omuntu mu muudu. Okugeza bwe muba munaagenda mu mukwano kw’olwo omusajja komawo ng’obudde bukyali n’akalabo k’oba oleetedde munno naye amanye ekigenda mu maaso.

Omukwano omwetegekere tegubowa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.