EMIKWANO mizibu, era gwe akyalina obudde bwagyo nkusaasidde kuba olunda nsega egenda okukulya. Nze .
Mbeera Namuwongo. Mbadde n’owewange ebbanga ddene nga twagalana eby’ensusso.
Wabula nga sikimanyi nti kino kirina be kinyiiza naddala mikwano gyange egindi ku lusegere.
Mukwano gwange nfanfe yampendulidde abayaaye abanzibye ebintu byange ekiro wamu n’okunkuba kyokka ate n’agenda n’ankojera ewa baze nti nva mu bwenzi era abasajja bannwanidde.
Ndi mu nnaku ey’ekitalo kuba nze n’owewange ono akola ogw’obukuumi tubadde tussa kimu nga twagalana naye aboogezi baagala kunnemesa ddya.
Ndi mulalirivu okukola kyonna ekisoboka okwegayirira taata w’abaana okutuusa lw’anaategeera ekituufu n’anziriramu.
Happy Bweme
Mukwano gwange atwawudde ne baze