TOP

Ivan ng'enda kukubikka laavu

Added 8th August 2013

Ameke NEWANKUBADDE nzaalibwa Soroti, naye ebbanga ly’obulamu bwange erisinga ndimaze mu Buganda.Ameke

NEWANKUBADDE nzaalibwa Soroti, naye ebbanga ly’obulamu bwange erisinga ndimaze mu Buganda.

Kino kimpadde omukisa n’okufumbirwa omusajja Omuganda . Nze Juliet Ameke. Mbeera Kabumbi-Nansana. Kati myaka ebiri bukya ntandika mukwano ne Ivan.

Omukwano gwaffe gwatandikira mu ssomero ng’ogusaaga era okukkakkana nga guvuddemu obufumbo.

Mu kiseera ekyo nnali mpangisa mu kifo kye nnali mmazeemu akabanga. Mu kiseera kye kimu ye munnange yali apangisa eKabumbi, Nansana.

Waaliwo okusika omuguwa okw’amaanyi ku ani aba asenguka okugenda ewa munne. Nnageezaako nnyo okumusikiriza okujja ewange olw’ensonga nti ennyumba gye nnali mpangisa yali ngazi bulungi okusinga ku yiye, kyokka ye n’antegeeza ng’ennyumba ye eno bwe yali okumpi n’emirimu gye era n’anneegayirira nzikirize okugenda ewuwe.

Yantegeeza nti okudda ewuwe ke kabonero ak’enkukulala akaali kajja okwoleka nga bwe mwagala.

Olw’okuba nga mu mazima ddala Ivan nnali mwagala, nnakkiriza okudda e Kabumbi n’okutuusa essaawa ya leero era okuva olwo ensonga z’omukwano gwaffe zitambudde bulungi.

Yakyalira bakadde bange e Soroti, ankoledde bizinensi ate nga n’omukwano agumpa mu bujjuvu.

Eby’okuzaala kituufu tubyagala naye tukyabiwadde obudde tumale okugattibwa mu bufumbo obutukuvu mu Eklezia mpozzi n’okuzimba.

Nze ku lwange ndi mwetegefu okumuzaalira abaana abawera. Ivan mmusuubiza okumwagala n’obutamujuza naddala mu nsonga za laavu muwonye okuwankawanka naddala mu biseera bino ebijjudde ebikemo.
 

Ivan ng’enda kukubikka laavu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...