TOP

Ssenga kino kituufu?

Added 13th August 2013

BAGAMBA omusajja gwe batayiridde, bwawona tasookera ku mukyala we mbu kireetera omukyala okulwala akasagazi.



BAGAMBA omusajja gwe batayiridde, bwawona tasookera ku mukyala we mbu kireetera omukyala okulwala akasagazi.

Ssenga bwe kiba bwe kityo, tewali ddagala lye nnyinza kukozesa nga sikikoze? Fred J e Mityana.

ANI akulimba oyo ayagala okuleeta obwenzi mu maka go? Mwana wange bakulimba era olina okwegatta ne mukyala wo okuggyako ng’oli mwenzi.

Ebigambo nga bino bikyamu nnyo kuba bireeta ebizibu bingi ng’obwenzi mu maka. Bw’ogenda okukukomola, buuza omusawo.

Omusawo agenda kukwewuunya kuba okwegatta n’omukyala atali mukyala wo kireeta bwenzi na bulwadde mu maka.

Okukukomola tekitegeeza butakozesa kondomu. Okukukomola kikendeeza ku mikisa gy’okufuna siriimu n’endwadde z’obukaba naye tekitegeeza nti tosobola kufuna siriimu.

Okimanyi bulungi nti Abasiraamu n’Abagisu nabo balwala siriimu kale teweeyibaala.
 

Ssenga kino kituufu?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...