TOP

Nnaabagereka akubye abafumbo akaama

Added 27th August 2013

Olwaleero Nnaabagereka Sylvia Nagginda awezezza emyaka 14 ng’agattiddwa ne Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II. Nnaabagereka awadde abakyala obubaka obujja okubayamba okuggya amaka gaabwe ku mutindo kwe gali bayige okugeeyagaliramu.



Olwaleero Nnaabagereka Sylvia Nagginda awezezza emyaka 14 ng’agattiddwa ne Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II. Baagattibwa mu Lutikko e Namirembe nga August 27, 1999.

Okuva olwo Nnaabagereka azze abudaabuda wamu n’okulera abaana ba Buganda ne Uganda okutwaliza awamu.

Nnaabagereka awadde abakyala obubaka obujja okubayamba okuggya amaka gaabwe ku mutindo kwe gali bayige okugeeyagaliramu.

Bwe yabadde asisinkanye abakyala Abakulisitaayo mu lusirika lwabwe olw’okwebuulirira olwabadde e Ggaba - Kawuku yalaze obunafu abakyala bwe balina ensangi zino obutuuse n’okubalemesa okutuukiriza obuvunaanyizbwa bw’okulabirira abaana be baabwe be bazaala.

Yagambye nti abakyala bangi mu nsi yonna balina ebizibu bingi ebibasoomooza mu bulamu nga bino baba basobola okubimalawo ssinga bakung’aana wamu ne basala amagezi ag’okubigonjoola okusinga buli omu okwefaako yekka.

Yanokoddeyo abakyala nga Allen Ssekkadde eyaleeta ekirowoozo ky’abakyala Abakulisitaayo okukung’aanako wamu ne basalira wamu amagezi okugonjoola ebizibu bye basanga ng’abakyala.

Essira yalitadde ku nsonga y’amaka naddala ku nkuza y’abaana n’agamba nti abakyala be bannakazadde b’eggwanga era nga bassibwa ddala ku mwanjo okutwala ensi ku mutendera ogwa waggulu naddala nga bayita mu kugunjula abaana.

“Okulabirira abaana buvunaanyizibwa obukuweebwa Katonda nga mu kino omukyala aba n’obuvunaanyizbwa obukulu wadde nga ensangi zino kirabika nga tekikyali kityo.

Mu Buganda, twesiimye n’obuwangwa bwaffe nga n’ekisinga obukulu gwe mugaso bwe guwa amaka gaffe.

Mu buwangwa empisa z’omu maka zitusigibwamu okuviira ddala nga tukyali bato mu maka gye tusibuka era ne tukula nazo, naye bino bikyuse nnyo kati olw’embeera y’amawanga n’addala empisa z’Abazungu ze tukoppa ezivuddeko empisa zaffe enzaaliranwa okubula.

Twerabidde obuwangwa obutusomesebwa bakadde baffe mu maka era nga kyeraga lwatu nti tufuuse ng’abatakyalina mugaso.

Kye tulina okukola mu kiseera kino kwe kufuba okweggyako ensobi ze tuzze tukola tufuule eggwanga lyaffe eryeyagaza” Nnaabagereka bwe yagambye.

Yawadde ekyokulabirako mu Amerika gye yagambye nti balina enkola nga buli ssaawa 4:00 ez’ekiro wabaawo akalango ku leediyo akabuuza abazadde oba nga bamanyi awali abaana baabwe, kyokka nga kino kyabanga kya kusoomooza kubanga bangi baamanyanga gye bali naye nga tebamanyi bye bakola oba be bali nabo.

Nnaabagereka yagambye nti abazadde bangi kuno basudde obuvunaanyizibwa bwabwe nga tebakyalina budde bwa baana be bazaala okugezaako okuzuula emize gye balina nga n’empisa ezisookerwako omuli okulya, okubuuza, obuyonjo n’ebirala tebabibayigirizza ekibaviirako okukula nga babambaavu.

“Y’ensonga lwaki nnatandikawo Ekisaakaate mwe twakagunjulira abaana abasoba mu 2000. Mu Kisaakaate tubayigiriza empisa, ennono n’obuwangwa bayige okubyeyagaliramu”, Bwe yakkatirizza n’agamba nti okuyiga okusinga abaana bakufuna bakyali mu mikono gya bakadde baabwe .

Yasiimye abaami be yagambye nti mu nsangi zino beewaayo ne bamala obudde obusinga n’abaana baabwe kyokka n’asaba abazadde bombi mu maka okuyiga okuba n’enkolagana ennungi nti kubanga y’eyamba ennyo mu kugunjula abaana baabwe.

“Mulina okuyiga okuyambagana nga mukola ogw’okugunjula n’okukuza abaana kubanga okukuza abaana kwetaaga enjuyi zombi nga bwe muba mukolagana n’okugunjula abaana kubabeerera ekintu ekisanyusa ne mukyeyagaliramu.
 

Nnaabagereka akubye abafumbo akaama

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.