TOP

Moze anzigye ku mudaala

Added 30th August 2013

GUNO omwaka katonda ankoledde ebikulu mu nsonga z’omukwano y’ensonga lwaki buli lukya nfukamira okumwebaza olw’ekirabo kya mwanamulenzi Moze ky’ampadde.

GUNO omwaka katonda ankoledde ebikulu mu nsonga z’omukwano y’ensonga lwaki buli lukya nfukamira okumwebaza olw’ekirabo kya mwanamulenzi Moze ky’ampadde.

Nze Maureen Nambi, mbeera mu kibuga ky’e Wakiso. Katonda ampadde omulenzi antegeera era ampadde essanyu mu bulamu.

Omukwano gwaffe gwatandika mu ngeri ya lusaago kyokka gufuuse ensonga. Moze yansanga ku mudaala gwa nkoko mu June w’omwaka guno.

Yang’aana okusasula n’akwata mu nsawo n’asasula ssente zonna.

Oluvannyuma yansaba nnamba y’essimu yange era ne twawukana ng’ansuubizza okunkubirako enkeera.

Bwe yankubira, yansaba okumusisinkana era ku mulundi guno twayawukana tukkiriziganyizza okutandika omukwano.

Okuva olwo ssaagala mbalimbe obulamu bwange bwakyuka.

Nfunye essanyu eritagambika kuba munnange ono afaayo nnyo ku bulamu bwange. Mu myezi ebiri gyokka gye twakamala mu laavu yaffe, antadde ku maapu.

Ankoledde ku byetaago byange ebisinga omuli n’okumpa kapito sso nga n’omukwano gw’ampa sigulinaako kabuuza.

Eno y’ensonga lwaki ntandise n’okufuna essuubi ly’okumuwa ekirabo kya bbebi ky’asinga okwagala mu bulamu bwe.

Ayagala nnyo omwana omulenzi era nsaba Katonda annyambe kino kituukirire.

Newankubadde mu kiseera kino nkyabeera waffe, nnina essuubi nti mu kiseera ekitali ky’ewala nja kusibamu ebyange mbitwale ewa Moze.

Mu kiseera kino buli lwe nfunawo akadde, ng’enda ewuwe ne mukolerako ku mirimu egitali gimu.

Njagala okukozesa omukisa guno okutegeeza bazadde bange nti nfunye omulenzi omutima gwange gwe gusiimye.

Kye nsigazza kwe kumubalaga.

Moze anzigye ku mudaala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.